40 Awamu n’omwana gw’endiga ogusooka, ojja kuwangayo kimu kya kkumi ekya efa y’obuwunga obutaliimu mpulunguse nga butabuddwamu ekitundu kimu kya kuna ekya yini y’amafuta agaggiddwa mu zzeyituuni enkube, ne kimu kya kuna ekya yini y’envinnyo ey’ekiweebwayo eky’eby’okunywa.