-
Ekyamateeka 4:41-43Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
41 Mu kiseera ekyo Musa yalonda ebibuga bisatu ku luuyi lwa Yoludaani+ olw’ebuvanjuba, 42 omuntu yenna anattanga munne mu butanwa ng’abadde teyamukyawa,+ asobole okuddukira mu kimu ku bibuga bino asigale nga mulamu.+ 43 Ebibuga ebyo bye bino: Bezeri+ ekiri mu ddungu mu kitundu eky’omuseetwe nga kya Balewubeeni, Lamosi+ ekiri mu Gireyaadi nga kya Bagaadi, ne Golani+ ekiri mu Basani nga kya Bamanase.+
-