“Ddala Lino Lye Linnya lya Katonda Erisinga Okuba Ettukuvu era Ekkulu”
Nicholas ow’e Cusa ye yayogera ebigambo ebyo mu mwaka gwa 1430.a Yali musajja ayagala ennyo eby’okuyiga, era yali asomye Oluyonaani, Olwebbulaniya, obufirosoofo, eby’eddiini, okubala, n’ebifa mu bwengula. Yakuguka mu by’amateeka g’eddiini y’Ekikatoliki nga wa myaka 22. Mu 1448 yalondebwa okuba kaliddinaali.
Emyaka nga 550 emabega, Nicholas ow’e Cusa yazimba ekizimbe omulabirirwa bannamukadde mu kibuga Kues, kati ekiyitibwa Bernkastel-Kues, ekiri mayiro nga 80 mu bukiika ddyo bw’ekibuga Bonn, mu Bugirimaani. Mu kizimbe kye kimu ekyo mwe muli n’etterekero ly’ebiwandiiko bya Cusa ebisoba mu 310. Ekimu ku biwandiiko ebyo ekiyitibwa Codex Cusanus 220 mwe musangibwa ebigambo ebyo waggulu Cusa bye yayogera mu 1430. Mu kwongera kwe okwo okwalina omutwe, In principio erat verbum (Ku Lubereberye Waaliwo Kigambo), Nicholas ow’e Cusa yakozesa Iehoua, ng’erinnya lya Katonda, Yakuwa, bwe liwandiikibwa mu Lulattini.b Ku lupapula 56, agamba bw’ati ku linnya lya Katonda: “Katonda yennyini ye yalyewa. Lye limanyiddwa nga Tetragrammaton, kwe kugamba, erinnya ery’ennukuta ennya. . . . Ddala lino lye linnya lya Katonda erisinga okuba ettukuvu era ekkulu.” Nicholas ow’e Cusa kye yayogera kikwatagana bulungi n’eky’okuba nti erinnya lya Katonda lisangibwa mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya ebyasooka.—Kuv. 6:3.
Ekiwandiiko kino ekyawandiikibwa mu kyasa 15 kye kimu ku ebyo ebisingayo obukadde ebisangibwamu erinnya eryo ery’ennukuta ennya, Tetragrammaton, nga liwandiikiddwa “Iehoua.” Ekiwandiiko ekyo kyongera okuwa obukakafu nti erinnya lya Katonda, “Yakuwa,” nga liri mu nnimi ezitali zimu, libadde likozesebwa okumala ebyasa bingi.
[[Obugambo obuli wansi]
a Nicholas ow’e Cusa era yali ayitibwa Nikolaus Cryfts (Krebs), Nicolaus Cusanus, oba Nikolaus von Kues. Kues lye lyali erinnya lye’kibuga ky’omu Bugirimaani gye yazaalibwa.
b Mu kwogera kwe okwo yali awagira njigiriza ya Tiriniti.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]
Ebiwandiiko bya Cusa