LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w11 3/15 lup. 20-23
  • Toyabuliranga Bakkiriza Banno

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Toyabuliranga Bakkiriza Banno
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Obuvunaanyizibwa Bwe Tulina eri Bakkiriza Bannaffe
  • Bwe Wabaawo Ebintu Ebitweraliikiriza mu Bulamu
  • Weekebere mu Bwesimbu
  • Oyinza otya ‘Okutuuka ku Buwanguzi’?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • “Muzimbaganenga”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Osobola Okuyamba Ekibiina Kyo?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Weeyongere Okwagala Yakuwa ne Bakkiriza Banno
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
w11 3/15 lup. 20-23

Toyabuliranga Bakkiriza Banno

OW’OLUGANDA ayitibwa Jarosław ne mukyala we, Beata,a bagamba nti, “Twamala emyaka kkumi miramba nga twemalidde ku bizineesi yaffe, era twalina ssente nnyingi. Wadde nga twakulira mu mazima, twali tuwabye nnyo era nga tuwulira nti tetusobola kudda mu mazima.”

Ow’oluganda omulala ayitibwa Marek agamba nti: “Olw’enkyukakyuka ezitali zimu ezaaliwo mu Poland, kyambeerera kizibu okufuna omulimu ogw’enkalakkalira. Ekyo kyammalamu nnyo amaanyi. Nnali ntya okwetandikirawo bizineesi eyange ku byange olw’okuba saalina bumanyirivu mu kukola bizineesi. Naye oluvannyuma nnasalawo okwetandikirawo bizineesi, nga ndowooza nti ekyo kijja kunnyamba okulabirira obulungi ab’omu maka gange, era nti tekijja kunkosa mu by’omwoyo. Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, nnakizuula nti nnali mukyamu.”

Mu nsi eno nga bbeeyi y’ebintu yeeyongera okulinnya era nga n’emirimu gyeyongera okubula, abantu abamu basobeddwa, ekyo ne kibaviirako okusalawo mu ngeri etali ya magezi. Ab’oluganda abamu basazeewo okukola okusussa mu ssaawo eza bulijjo, oba okukola omulimu ogusukka mu gumu, oba okwetandikirawo bizineesi ezaabwe ku bwabwe wadde nga tebalina bumanyirivu. Balowooza nti okufuna ssente ezisingawo kijja kubayamba okulabirira obulungi ab’omu maka gaabwe era nti tekijja kubakosa mu by’omwoyo. Kyokka, ebigwa bitalaze n’enkyukakyuka ezibaawo mu by’enfuna by’eggwanga biyinza okugootanya enteekateeka zaabwe. Bangi ku bo okunoonya ebintu kubatwalirizza ne batuuka n’okuddirira mu by’omwoyo.​—Mub. 9:11, 12.

Ab’oluganda abamu beemalidde nnyo ku bintu by’ensi ne kiba nti tebakyalina biseera kubuulira, kwesomesa, na kugenda mu nkuŋŋaana. Tewali kubuusabuusa nti ekyo kibaleetedde okuddirira mu by’omwoyo n’okufiirwa enkolagana yaabwe ne Yakuwa. Ate era kiyinza n’okubaleetera okufiirwa enkolagana gye balina ne bakkiriza bannaabwe. (Bag. 6:10) Abamu bagenze beeyawula mpolampola ku baganda baabwe Abakristaayo. Ekyo tetusaanidde kukikkiriza kututuukako.

Obuvunaanyizibwa Bwe Tulina eri Bakkiriza Bannaffe

Ng’ab’oluganda, waliwo embeera nnyingi mwe tusobola okwolekera okwagala kwaffe eri bakkiriza bannaffe. (Bar. 13:8) Kiyinzika okuba nti mu kibiina kyo mulimu ab’oluganda abeetaaga obuyambi. (Yob. 29:12) Abamu bayinza okuba nga bakisanga nga kizibu okufuna ebyetaago byabwe eby’omubiri. Omutume Yokaana yalaga ekyo kye tusobola okukola mu mbeera ng’eyo. Yagamba nti: “Omuntu yenna aba n’eby’obugagga eby’omu nsi eno, n’alaba muganda we ng’ali mu bwetaavu, kyokka n’atamusaasira, ayinza atya okugamba nti ayagala Katonda?”​—1 Yok. 3:17.

Oyinza okuba ng’otera okuyamba ab’oluganda abalina ebyetaago eby’omubiri. Naye tekimala kubayamba mu ngeri eyo yokka. Abamu bayinza okuba nga baweddemu amaanyi oba nga bawulira ekiwuubaalo. Bayinza okuba nga balina obulwadde obw’amaanyi, nga bafiiriddwako abaagalwa baabwe, oba nga bawulira nti si ba mugaso mu maaso ga Yakuwa. Engeri emu gye tusobola okubayambamu kwe kubawuliriza nga baliko kye bagamba n’okunyumyako nabo, bwe kityo ne tulaga nti tufaayo ku nneewulira zaabwe ne ku byetaago byabwe eby’omwoyo. (1 Bas. 5:14) Kino kisobola okunyweza enkolagana yaffe ne baganda baffe.

Okusingira ddala abakadde mu kibiina basaanidde okufaayo ku bakkiriza bannaabwe nga babawuliriza, nga bafuba okubategeera obulungi, era nga babawa obuyambi obw’eby’omwoyo. (Bik. 20:28) Bwe bakola bwe batyo baba bakoppa ekyokulabirako ky’omutume Pawulo, eyali ‘ayagala ennyo’ bakkiriza banne.​—1 Bas. 2:7, 8.

Naye singa Omukristaayo awaba n’ava mu kisibo, kati olwo anaasobola atya okutuukiriza obuvunaanyizibwa bw’alina eri bakkiriza banne? Abakadde mu kibiina nabo basobola okutwalirizibwa omwoyo gw’okwagala ebintu. Kiki ekiyinza okubaawo singa Omukristaayo atwalirizibwa omwoyo ng’ogwo?

Bwe Wabaawo Ebintu Ebitweraliikiriza mu Bulamu

Nga bwe tulabye, okweraliikirira ennyo engeri gye tuyinza okuyimirizaawo ab’omu maka gaffe kiyinza okutuleetera okwemalira ku mirimu gyaffe, ne kituviirako okunafuwa mu by’omwoyo. (Mat. 13:22) Marek, ayogeddwako waggulu, agamba nti: “Bizineesi yange bwe yaggwa, nnasalawo okugenda mu nsi endala okunoonya omulimu ogusasula obulungi. Nnasooka ne mmalayo emyezi essatu ne nkomawo, ne nzirayo ne mmalayo emyezi emirala essatu era ne nkomawo, bwe ntyo bwe nnakola okumala ekiseera. Ekyo mukyala wange ataali mukkiriza kyamuyisanga bubi nnyo.”

Ab’omu maka ge bokka si be baakosebwa. Marek agattako nti, “Ng’oggyeko okuba nti nnali mmala essaawa nnyingi nnyo ku mulimu, abantu be nnali nkoleramu baali bakozesa olulimi olubi era nga banyigiriza abalala. Baali balinga abayaaye. Kino kyamalamu nnyo amaanyi era nnawulira nga nfuuse ng’omuddu. Okuva bwe kiri nti nnali sisobola kukola ku byetaago byange eby’omwoyo, nnawulira nga sikyasobola kuyamba balala mu by’omwoyo.”

Ebyo ebyatuuka ku Marek biraga nti tusaanidde okusooka okufumiitiriza nga tetunnabaako kye tusalawo. Wadde ng’okugenda mu nsi endala okukola ssente kiyinza okulabika ng’ekiyinza okugonjoola ebizibu byaffe eby’eby’enfuna, olowooza tekiireete bizibu birala? Okugeza, ekyo kinaakwata kitya ku nneewulira y’ab’omu maka gaffe awamu n’embeera yaabwe ey’eby’omwoyo? Tekiituleetere kweyawula ku b’oluganda mu kibiina? Tekiitulemese kuweereza bakkiriza bannaffe?​—1 Tim. 3:2-5.

Kya lwatu nti abo abasalawo okugenda okukolera mu nsi endala, si be bokka abasobola okutwalirizibwa emirimu gyabwe. Lowooza ku Jarosław ne mukyala we, Beata. Jarosław agamba nti, “Byatandika ng’eby’olusaago. Bwe twali twakafumbiriganwa, twatandikawo kabizineesi ak’okutunda obunyama mu kafo awaali bakasitoma abawerako. Amagoba amangi ge twali tufuna gaatuleetera okwagala okugaziya ku bizineesi yaffe. Naye kino kyatumalako ebiseera, ne tutandika n’okusubwa enkuŋŋaana ezimu. Mu kiseera kitono, nnafiirwa enkizo ey’okuweereza nga payoniya era n’okuweereza ng’omuweereza mu kibiina. Amagoba bwe geeyongera, tweyongera okugaziya bizineesi yaffe era ne tutandika okukolera awamu n’omuntu ataali mukkiriza. Mu kiseera kitono nnatandika okugendanga mu nsi ezitali zimu okutunda ebintu byaffe era nga ne ssente tufuna bukadde na bukadde bwa doola. Ebiseera ebisinga obungi saabeeranga waka, era enkolagana yange ne mukyala wange awamu ne muwala wange yakendeera. N’ekyavaamu, bizineesi yandeetera okuggweeramu ddala amaanyi mu by’omwoyo. Olw’okuba nnali nneeyawudde ku kibiina, nnali sikyalina wa luganda yenna gwe ndowoozaako.”

Kino kituyigiriza ki? Omukristaayo bwe yeemalira ku kunoonya ebintu, ekyo kiyinza okumuleetera okulagajjalira obuvunaanyizibwa bwe n’okufiirwa “ebyambalo bye eby’okungulu,” ekintu ekimwawulawo ng’Omukristaayo. (Kub. 16:15) Ekyo kiyinza okutuleetera okweyawula ku b’oluganda be tubadde tuyamba.

Weekebere mu Bwesimbu

Oyinza okugamba nti, ‘Nze ekyo tekiyinza kuntuukako.’ Naye, buli omu ku ffe asaanidde okulowooza ennyo ku bintu ebikulu ebyetaagibwa mu bulamu. Omutume Pawulo yawandiika nti: “Tetwaleeta kintu kyonna mu nsi era tetulina kye tuyinza kuggyamu. N’olwekyo, bwe tunaaba n’eby’okulya n’eby’okwambala tunaabanga bamativu n’ebyo.” (1 Tim. 6:7, 8) Kya lwatu nti ebintu omuntu bye yeetaaga mu bulamu bisinziira ku nsi mw’abeera. Ebintu ebitwalibwa ng’ebyetaago mu nsi emu biyinza okutwalibwa ng’eby’okwejalabya mu nsi endala.

Ka tubeere mu nsi ki, kikulu okulowooza ku bigambo bya Pawulo bino: “Abo abamaliridde okugaggawala bagwa mu kukemebwa ne mu mutego era batwalirizibwa okwegomba okw’obusiru era okw’akabi, okuviirako abantu okuzikiririra ddala.” (1 Tim. 6:9) Omuntu bw’aba atega omutego, aguteeka awantu ekyo ky’ayagala okukwasa we kitasobola kugulabira mangu. Kati olwo tuyinza tutya okwewala okutwalirizibwa “okwegomba okw’obusiru”?

Okumanya ebyo bye tusaanidde okukulembeza mu bulamu kisobola okutuyamba okwemalira ku bintu eby’omwoyo, gamba ng’okwesomesa Bayibuli. Okwesomesa n’okusaba biyamba Omukristaayo ‘okuba n’obusobozi, n’okuba ng’alina byonna bye yeetaaga’ okusobola okuyamba abalala.​—2 Tim. 2:15; 3:17.

Okumala emyaka egiwerako, abakadde baafuba nnyo okuyamba Jarosław. Ekyo kyamuleetera okukola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwe. Agamba nti: “Lumu abakadde bwe baali boogera nange, baansomera ebyawandiikibwa ebikwata ku musajja omugagga eyali ayagala okufuna obulamu obutaggwaawo naye nga si mwetegefu kwefiiriza bya bugagga bye. Mu ngeri ey’amagezi, bambuuza obanga nnali ndaba engeri ebyawandiikibwa ebyo gye binkwatako. Ekyo kyanzibula amaaso!”​—Nge. 11:28; Mak. 10:17-22.

Jarosław yafumiitiriza ku mbeera ye era n’asalawo okulekayo bizineesi gye yali akola. Mu myaka ebiri gyokka, Jarosław n’ab’omu maka ge baali bazzeemu amaanyi mu by’omwoyo. Kati aweereza baganda be ng’omukadde. Jarosław agamba nti: “Ab’oluganda bwe beemalira ku bizineesi ne batuuka n’okulagajjalira ebintu eby’omwoyo, nkozesa ekyokulabirako kyange okubalaga nti si kya magezi okukolagana ennyo n’abantu abatali bakkiriza. Tekiba kyangu kusigala ng’oli mwesigwa na kugaana mirimu giriko ssente ennyingi wadde nga giyinza okukukosa mu by’omwoyo.”​—2 Kol. 6:14.

Marek naye yafuna eky’okuyiga mu ebyo bye yayitamu. Wadde ng’okukolera mu nsi endala kyamusobozesa okufuna ssente nnyingi okulabirira amaka ge, enkolagana ye ne Katonda awamu n’ab’omu maka ge yayonooneka. Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, yatandika okulowooza ku ebyo bye yali akulembeza mu bulamu. Agamba nti, “Embeera gye nnalimu yali efaanana ng’eya Baluki eyali ‘yeenoonyeza ebintu ebikulu.’ Nnasalawo okubuulira Yakuwa ebyali binneeraliikiriza, era kati mpulira nga nnina amaanyi mu by’omwoyo.” (Yer. 45:1-5) Marek kati aluubirira “omulimu omulungi” ogw’okuweereza ng’omulabirizi mu kibiina.​—1 Tim. 3:1.

Marek alabula abo bonna abalowooza ku ky’okugenda mu nsi endala okunoonya emirimu egisasula obulungi. Agamba nti: “Bw’ova mu nsi yo n’ogenda okukolera mu nsi endala, kiba kyangu nnyo okugwa mu butego bw’ensi eno embi. Obutamanya bulungi lulimi lwogerwa bantu ababeera mu nsi eyo kiyinza okukulemesa okuwuliziganya nabo obulungi. Kituufu nti osobola okufuna ssente, naye era osobola n’okufuna ebiwundu mu by’omwoyo ebiyinza okulwawo ennyo okuwona.”

Okuba n’endowooza etegudde lubege ku mirimu gyaffe awamu n’obuvunaanyizibwa bwe tulina eri baganda baffe kijja kutuyamba okusanyusa Yakuwa. Era kijja kutusobozesa okuteekerawo abalala ekyokulabirako ekirungi ekiyinza okubakubiriza okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Abo abaweddemu amaanyi beetaaga baganda baabwe ne bannyinaabwe okubayamba, okubalaga obusaasizi, n’okubateerawo ekyokulabirako ekirungi. Abakadde mu kibiina n’ab’oluganda abakuze mu by’omwoyo basobola okuyamba bakkiriza bannaabwe okusigala nga balina endowooza etegudde lubege, kibayambe okwewala okutwalirizibwa ebintu ebyeraliikiriza mu bulamu.​—Beb. 13:7.

Yee, ka tuleme kukkiriza mirimu gyaffe kutuleetera kwabulira bakkiriza bannaffe. (Baf. 1:10) Mu kifo ky’ekyo, ka bulijjo tufube okuba ‘abagagga mu maaso ga Katonda’ nga tukulembeza obwakabaka mu bulamu bwaffe.​—Luk. 12:21.

[Obugambo obuli wansi]

a Amannya agamu gakyusiddwa.

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 21]

Omulimu gwo gukulemesa okubaawo mu nkuŋŋaana?

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 23]

Enkizo gy’olina okuyamba bakkiriza banno ogitwala nga ya muwendo?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share