Ebirimu
Agusito 15, 2012
© 2012 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania. All rights reserved.
Ogw’Okusoma Mu Kibiina
EBITUNDU EBY’OKUSOMA
SSEBUTEMBA 24-30, 2012
OLUPAPULA 3 • ENNYIMBA: 65, 2
OKITOBBA 1-7, 2012
Weeyise ng’Omutuuze w’Obwakabaka!
OLUPAPULA 11 • ENNYIMBA: 16, 98
OKITOBBA 8-14, 2012
Weekuume Emitego gy’Omulyolyomi!
OLUPAPULA 20 • ENNYIMBA: 61, 25
OKITOBBA 15-21, 2012
Ba Munywevu Weewale Emitego gya Sitaani!
OLUPAPULA 25 • ENNYIMBA: 32, 83
EKIGENDERERWA KY’EBITUNDU EBY’OKUSOMA
EKITUNDU EKY’OKUSOMA 1 OLUPAPULA 3-7
Obunnabbi bwa Danyeri bwalaga nti ‘okumanya okutuufu’ kwandyeyongedde mu ‘kiseera eky’enkomerero.’ (Dan. 12:4) Ekitundu kino kiraga engeri obunnabbi obwo gye butuukiriziddwamu. Era kiwa obukakafu obulaga nti Yesu ali wamu n’abo abaweereza Yakuwa Katonda.
EKITUNDU EKY’OKUSOMA 2 OLUPAPULA 11-15
Abatuuze b’Obwakabaka be baani? Biki Yakuwa by’abeetaagisa era bayinza batya okulaga nti baagala nnyo amateeka ge? Ekitundu kino kijja kuddamu ebibuuzo ebyo.
EBITUNDU EBY’OKUSOMA 3, 4 OLUPAPULA 20-29
Sitaani akozesa emitego egitali gimu ng’ayagala okutukwasa. Ebitundu bino biraga engeri gye tuyinza okwewala emitego gya Sitaani etaano: obutafuga lulimi, okutya abantu n’okupikirizibwa, okulumizibwa ekisukkiridde olw’ensobi ze twakola, okwagala ebintu, n’obwenzi.
EBIRALA EBIRI MU KATABO KANO
8 “Omulimu Gwammwe Guliweebwa Empeera”
16 Obumu bw’Abantu ba Yakuwa n’Enkyukakyuka ez’Omuggundu
30 Okyajjukira?
KU DDIBA: Ow’oluganda ng’abuulira omulunzi w’ente mu kitundu ky’e Bafatá ekiri mu Guinea-Bissau
GUINEA-BISSAU
ABANTU
1,515,000
ABABUULIZI
120
ABAYIZI BA BAYIBULI
389