LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w13 10/1 lup. 14-15
  • Bwe Tulaba Langi Tukwatibwako Tutya?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Bwe Tulaba Langi Tukwatibwako Tutya?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Subheadings
  • Similar Material
  • ENGERI GYE TUKWATIBWAKO NGA TULABYE LANGI EZ’ENJAWULO
  • LANGI ZITUYAMBA OKUJJUKIRA
  • Otegeera Engeri za Katonda Ezitalabika?
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2019
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 10/1 lup. 14-15

Bwe Tulaba Langi Tukwatibwako Tutya?

Bw’otunuulira ebintu ebikwetoolodde, amaaso go n’obwongo bwo bikolera wamu n’osobola okubitegeera n’okusalawo eky’okukola. Otunuulira ekibala n’osalawo obanga onookirya. Otunuulira ebire n’omanya nti enkuba ejja kutonnya. Otunuulira ebigambo by’osoma kati n’otegeera amakulu gaabyo. Mu bintu ebyo byonna, langi erina engeri gy’ekuyambamu. Ekuyamba etya?

Langi y’ekibala ekuyamba okumanya obanga kyengedde. Langi y’ebire ekuyamba okumanya embeera y’obudde. Ebigambo by’osoma kati obiraba bulungi olw’okuba langi yaabyo ya njawulo ku y’olupapula kwe biwandiikiddwa. Yee, wadde ng’oluusi tokirowoozaako, buli kiseera langi ekuyamba okutegeera ebintu by’oba olabye. Ng’oggyeko ekyo, waliwo engeri gye tukwatibwako nga tulabye langi ezitali zimu.

ENGERI GYE TUKWATIBWAKO NGA TULABYE LANGI EZ’ENJAWULO

Bw’oyingira mu dduuka olaba ebintu bingi ebisikiriza. Abakola eby’amaguzi basinziira ku ekyo abantu kye baagala, ekikula kyabwe, n’emyaka gyabwe okulonda langi ezinaabasikiriza. Abakola ebintu ebitimbibwa mu mayumba, abakola emisono gy’engoye, n’abasiizi b’ebifaananyi, nabo bakimanyi nti abantu balina engeri gye bakwatibwako nga balabye langi ezitali zimu.

Abantu bakwataganya langi n’ebintu eby’enjawulo okusinziira ku buwangwa bwabwe n’obulombolombo. Ng’ekyokulabirako, abantu abamu ab’omu Asiya langi emmyufu bagikwataganya na mukisa oba okujaganya, naye mu bitundu ebimu eby’omu Afirika, langi emmyufu ekwataganyizibwa na kukungubaga. Kyokka, ka tube nga tubeera mu bitundu bya njawulo, waliwo langi ezitukwatako mu ngeri y’emu. Ka tulabeyo langi ssatu era n’engeri gy’oyinza okukwatibwako ng’ozirabye.

EMMYUFU: Langi emmyufu erabika mangu era etera kukwataganyizibwa n’amaanyi, entalo, oba akabi. Eyinza okuleetera omuntu okussiza okumu okumu n’omutima gwe okukubira okumu okumu.

Mu Bayibuli, ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyavvuunulwa “emmyufu” kiva mu kigambo ekitegeeza “omusaayi.” Bayibuli ekozesa langi emmyufu ng’eyogera ku malaaya omussi ayambadde ebyambalo ebya kakobe n’ebimyufu era atudde “ku nsolo emmyufu . . . ejjudde amannya ag’obuvvoozi.”​—Okubikkulirwa 17:1-6.

KIRAGALA: Obutafaananako langi emmyufu, langi ya kiragala etera kukwataganyizibwa na mirembe. Tuwulira emirembe bwe tulaba ennimiro ezirimu ebirime ebya kiragala era n’obusozi obuliko omuddo ogwa kiragala. Ekitabo ky’Olubereberye ekyogera ku kutonda kiraga nti Katonda ye yatonda omuddo.​—Olubereberye 1:11, 12, 30.

ENJERU: Langi enjeru etera kukwataganyizibwa na kitangaala n’obuyonjo. Ate era etera okukwataganyizibwa n’ebintu ebirala gamba ng’obulungi, n’obutukuvu. Langi enjeru y’esinga okwogerwako mu Bayibuli. Mu kwolesebwa, abantu ne bamalayika balabibwa nga bambadde ebyambalo ebyeru, ekitegeeza obutuukirivu n’obuyonjo mu by’omwoyo. (Yokaana 20:12; Okubikkulirwa 3:4; 7:9, 13, 14) Embalaasi eziriko abazeebagadde nga bambadde engoye enjeru era ennyonjo, zikiikirira olutalo olutukuvu. (Okubikkulirwa 19:14) Katonda akozesa ekyokulabirako kya langi enjeru okutukakasa nti mwetegefu okutusonyiwa ebibi byaffe. Agamba nti: “Ebibi byammwe ne bwe biba ng’olugoye olumyufu, binaaba byeru ng’omuzira.”​—Isaaya 1:18.

LANGI ZITUYAMBA OKUJJUKIRA

Engeri Bayibuli gy’ekozesaamu langi eraga nti Katonda amanyi engeri abantu gye bakwatibwako nga balabye langi ezitali zimu. Ng’ekyokulabirako, ekitabo kya Bayibuli ekiyitibwa Okubikkulirwa kyayogera ku bintu ebiriwo leero, gamba ng’entalo, enjala, n’abantu okufa olw’ebbula ly’emmere n’obulwadde. Okutuyamba okujjukira obulungi ebintu ebyo, okwolesebwa kulaga abeebagadde embalaasi eza langi ez’enjawulo.

Okusooka, okwolesebwa okwo kulaga embalaasi enjeru, ekiikirira olutalo lwa Kristo Yesu olw’obutuukirivu. Kuddako embalaasi emmyufu, ekiikirira entalo wakati w’amawanga. Embalaasi eyo egobererwa embalaasi enzirugavu ekiikirira enjala. Oluvannyuma tulaba “embalaasi ensiiwuufu; era oyo eyali agituddeko erinnya lye nga ye Kufa.” (Okubikkulirwa 6:1-8) Langi ya buli mbalaasi etukwatako mu ngeri ya njawulo olw’ekyo ky’ekiikirira. Kitwanguyira okujjukira embalaasi ezo n’ebyo bye zituyigiriza ku biriwo leero.

Mu Bayibuli mulimu ebyokulabirako bingi ebiraga engeri langi gye zikozesebwamu okutuyamba okutegeera obulungi ekiba kiyigirizibwa. Nga bwe tulabye, Oyo eyatonda langi, ekitangaala, n’amaaso g’omuntu akozesa langi okuyamba abo abasoma Bayibuli okutegeera obulungi n’okujjukira bye baba basoma. Langi y’ekintu kyonna kye tuba tulaba etuyamba okukitegeera obulungi. Tukwatibwako nnyo nga tulabye langi ez’enjawulo. Langi esobola okutuyamba okujjukira ebintu ebikulu. Langi kirabo Omutonzi waffe kye yatuwa tusobole okunyumirwa obulamu.

Nuuwa n’abomu maka ge bwe baava mu lyato, Katonda yabalaga musoke owa langi ezitali zimu ng’akabonero akabakakasa nti taliddamu kuzikiriza bantu ng’akozesa amataba. Musoke oyo ateekwa okuba nga yabalabikira bulungi nnyo.​—Olubereberye 9:12-17.

Abo abagamba nti ebintu tebyatondebwa butondebwa bayinza okwebuuza ensonga lwaki abantu balina obusobozi bw’okulaba langi ez’enjawulo, okuva bwe kiri nti ne bwe tutaba na busobozi obwo tusobola okuba abalamu. Naye bwe tukitegeera nti Katonda yatutonda nga kitusanyusa okulaba langi ez’enjawulo, kituyamba okukimanya nti atwagala era nti ayagala tunyumirwe obulamu.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share