Ebirimu
Ddesemba 15, 2013
© 2013 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania.
EBITUNDU EBY’OKUSOMA
FEBWALI 3-9, 2014
Tokkiriza ‘Ndowooza Yo Kutabulwatabulwa’!
OLUPAPULA 6 • ENNYIMBA: 65, 59
FEBWALI 10-16, 2014
OLUPAPULA 11 • ENNYIMBA: 40, 75
FEBWALI 17-23, 2014
‘Eneebanga Ekijjukizo Gye Muli’
OLUPAPULA 17 • ENNYIMBA: 109, 18
FEBWALI 24, 2014–MAAKI 2, 2014
“Mukolenga Bwe Mutyo Okunzijukiranga Nze”
OLUPAPULA 22 • ENNYIMBA: 99, 8
EBITUNDU EBY’OKUSOMA
▪ Tokkiriza ‘Ndowooza Yo Kutabulwatabulwa’!
Tusaanidde okwewala okulimbibwalimbibwa n’okuteebereza ku bintu ebitayogerwako mu Bayibuli. Okuva bwe kiri nti enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu eneetera okutuuka, okulabula okuli mu bbaluwa Esooka n’ey’Okubiri Pawulo ze yawandiikira Abassessaloniika kutukwatako nnyo.
▪ Oneefiiriza ku lw’Obwakabaka?
Abo abaagala okuwagira omulimu gw’Obwakabaka balina okubaako bye beefiiriza. Mu kitundu kino tugenda kulaba ekyo kye tuyigira ku ssaddaaka Abaisiraeri ze baawangayo. Era tujja kulaba ebyokulabirako by’abo abaliko bye beefiirizza okusobola okuwagira omulimu gw’Obwakabaka.
▪ ‘Eneebanga Ekijjukizo Gye Muli’
▪ “Mukolenga Bwe Mutyo Okunzijukiranga Nze”
Buli mwaka, Abayudaaya bakwata embaga ey’Okuyitako era kumpi mu kiseera kye kimu n’Abakristaayo bajjukira okufa kwa Yesu. Lwaki twandifubye okumanya ebikwata ku mbaga ey’Okuyitako? Tumanya tutya ennaku z’omwezi omukolo ogw’eky’Ekiro kya Mukama Waffe lwe gulina okukwatibwa, era omukolo ogwo gulina makulu ki gye tuli?
EBIRALA EBIRI MU KATABO KANO
3 Yakuwa Yabakuuma nga Bayita mu Nsozi
16 Okyajjukira?
27 Okuguma ng’Ofiiriddwa Munno mu Bufumbo
32 Olukalala lw’Emitwe Egibadde mu Omunaala gw’Omukuumi mu 2013
KU DDIBA: Si kyangu kutuuka ku bantu abeesudde ababeera mu bitundu ebyo eby’ensozi. Ebitundu ebimu birimu agayinja aganene agatudde waggulu ku nsozi. Naye ab’oluganda bafuba okutuuka ku bantu ababeera mu nsozi z’e Matobo, Matabeleland, Zimbabwe
ZIMBABWE
ABANTU:
12,759,565
ABABUULIZI:
40,034
ABAYIZI BA BAYIBULI:
90,894
Abantu b’omu Zimbabwe banyumirwa nnyo okusoma ebitabo byaffe. Okutwalira awamu, buli mubuulizi agaba magazini nga 16 buli mwezi