Ebirimu
3 Beewaayo Kyeyagalire—Mu Butuluuki
WIIKI YA AGUSITO 28, 2017–SSEBUTEMBA 3, 2017
7 Noonya eby’Obugagga Ebya Nnamaddala
Ekitundu kino kiraga engeri gye tuyinza okukozesaamu eby’obugagga byaffe okukola “emikwano” mu ggulu. (Luk. 16:9) Era kiraga engeri gye tuyinza okwewalamu okutwalirizibwa enteekateeka y’eby’obusuubuzi n’engeri gye tuyinza okuweereza Yakuwa mu bujjuvu.
WIIKI YA SSEBUTEMBA 4-10, 2017
12 “Mukaabire Wamu n’Abo Abakaaba”
Omukristaayo ayinza atya okwaŋŋanga obulumi obubaawo ng’afiiriddwa omuntu we? Yakuwa atubudaabuda okuyitira mu Yesu Kristo, mu Byawandiikibwa, ne mu kibiina Ekikristaayo. Ekitundu kino kijja kutulaga engeri gye tuyinza okubudaabudibwamu n’engeri gye tuyinza okubudaabudamu abalala.
WIIKI YA SSEBUTEMBA 11-17, 2017
17 Lwaki Tusaanidde Okutendereza Yakuwa?
Enfunda n’enfunda omuwandiisi wa Zabbuli eya 147 akubiriza abantu okutendereza Yakuwa. Biki ebikwata ku Yakuwa ebyaleetera omuwandiisi wa zabbuli okukubiriza abantu okumutendereza? Ekitundu kino kiraga ebintu ebyo, era kiraga ensonga lwaki twandikoppye omuwandiisi wa zabbuli oyo.
WIIKI YA SSEBUTEMBA 18-24, 2017
22 Yakuwa k’Awe “Enteekateeka Zo Zonna Omukisa”
Abavubuka bangi bayingidde obuweereza obw’ekiseera kyonna. Naawe wandyagadde okuyigira obuweereza obwo? Ekitundu kino kiwa amagezi okuva mu Bayibuli agasobola okukuyamba okukola enteekateeka ezinaakusobozesa okuba omusanyufu mu biseera eby’omu maaso.