Abantu Abasingayo Okuba Abasanyufu mu Nsi
1 “Balina essanyu abantu abalina Yakuwa nga Katonda waabwe.” (Zab. 144:15, NW) Ebigambo ebyo biraga nti Abajulirwa ba Yakuwa be bantu abasingayo okuba abasanyufu mu nsi. Teri kintu kireeta ssanyu okusinga okuweereza Katonda omu ow’amazima era omulamu, Yakuwa. Olw’okuba ye “Katonda omusanyufu,” n’abo abamusinza booleka essanyu ly’alina. (1 Tim. 1:11, NW) Bintu ki eby’enjawulo ebituleetera essanyu mu kusinza kwaffe?
2 Ensonga Lwaki Tuli Basanyufu: Yesu yatukakasa nti essanyu liva mu ‘kumanya obwetaavu bwaffe obw’eby’omwoyo.’ (Mat. 5:3, NW) Okunyiikirira okusoma Baibuli n’okubaawo mu nkuŋŋaana zonna bikola ku bwetaavu obwo. Okutegeera amazima g’Ekigambo kya Katonda kutusumuludde okuva mu bulimba bw’eby’eddiini. (Yok. 8:32) Era Ebyawandiikibwa bituyigirizza engeri y’okweyisaamu esingayo obulungi. (Is. 48:17) N’olw’ensonga eyo, tufunye emikwano emirungi egy’Ekikristaayo, baganda baffe abasanyufu.—1 Bas. 2:19, 20; 1 Peet. 2:17.
3 Tufuna okumatira okw’amaanyi mu kugondera emitindo gya Katonda egy’empisa egya waggulu, kuba tukimanyi nti kino kituwa obukuumi era kisanyusa Yakuwa. (Nge. 27:11) Munnamawulire omu yagamba: “Newakubadde emitindo gye bagoberera mikakali, Abajulirwa ba Yakuwa tebalabika kuba banakuwavu. Okwawukana ku ekyo, abato n’abakulu [mu bo] balabika nga basanyufu buli kiseera.” Tuyinza tutya okuyamba abalala okufuna essanyu lye tulina?
4 Yamba Abalala Bafune Essanyu: Ensi ejjudde ennaku, era okutwalira awamu abantu tebasuubirayo kirungi kyonna mu biseera eby’omu maaso. Kyokka, ffe tutunuulira ebiseera eby’omu maaso okuba ebitangaavu, nga tumanyi nti ekiseera kijja kutuuka ennaku yonna eggweewo. (Kub. 21:3, 4) N’olwekyo, twenyigira mu buweereza n’obunyiikivu, nga tunoonya abantu abeesimbu okubabuulira essuubi lyaffe wamu ne bye tukkiriza ku Yakuwa.—Ez. 9:4.
5 Mwannyinaffe omu aweereza nga payoniya yagamba: “Tewali kireeta ssanyu ng’okuyamba abantu okumanya Yakuwa n’amazima agamukwatako. Ka tukole kyonna ekisoboka nga tukubiriza abalala okukkiriza enteekateeka ey’okuyiga Baibuli mu maka gaabwe. Okuweereza Yakuwa era n’okwewaayo okuyamba abalala bamuweereze, kireeta essanyu lingi nnyo.—Bik. 20:35.