Okwejjukanya Mu Ssomero Ly’omulimu Gwa Katonda
Ebibuuzo ebiddirira bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Agusito 29, 2005. Omulabirizi akubiriza essomero ajja kukubiriza essomero mu ddakiika 30, nga lyesigamiziddwa ku ebyo ebyasomebwa okuva mu wiiki eya Jjulaayi 4 okutuuka nga Agusito 29, 2005. [Weetegereze: Bwe watabaawo kijuliziddwa oluvannyuma lw’ekibuuzo, kijja kukwetaagisa okukola okunoonyereza okukwo okusobola okufuna eky’okuddamu.—Laba ekitabo Ssomero ly’Omulimu, emp. 36-7.]
ENGERI ENNUNGI EZ’OKWOGERAMU
1. Bwe tuba tubuulira abalala ku ssuubi lyaffe, lwaki ‘tetwandibadde bakakanyavu’ era lwaki kino kikulu? (Baf. 4:5; Yak. 3:17, NW) [be-LU lup. 251 but. 1-3, n’akasanduuko] Obutaba bakakanyavu tufaayo ku mbeera y’abantu be twogera nabo ne nneewulira zaabwe. Okuba abamalirivu era abanyiikivu n’obutakalambira ku nsonga bwe kiba kyetaagisa kyoleka nti tetuli bakakanyavu. Kino kikulu nnyo kubanga okukakaatika endowooza yo ku balala kiyinza okubaleetera obutassaayo mwoyo ku by’oyogera.
2. Okumanya ddi lwe kyetaagisa obutakalambira ku nsonga, kiyinza kitya okutuyamba okukolagana obulungi n’abalala? [be-LU lup. 252 kat. 5-lup. 253 kat. 1] Wadde nga tuyinza okukimanya nti omuntu gwe twogera naye alina endowooza enkyamu, ebiseera ebimu kiyinza okutwetaagisa obutakalambira ku nsonga. Bwe tutamuwakanya kituyamba okukubaganya ebirowoozo ku kintu ekirala. Bwe tumanya nti Yakuwa yawa abantu obusobozi bw’okwesalirawo nakyo kiyinza okutuyamba obutakalambira ku nsonga. (Yos. 24:15; Nge. 19:11)
3. Lwaki kikulu okukozesa obulungi ebibuuzo nga tuyamba abalala okulowooza ku nsonga eba ekubaganyizibwako ebirowoozo? [be-LU lup. 253 but. 2-3] Ebibuuzo bwe bikozesebwa obulungi, biwa abantu akakisa okwogera ebyo ebibali ku mutima era n’okulowooza ku nsonga eba eyogerwako. Mu kifo ky’okwanguyiriza okuddamu ebibuuzo era n’okwefuga emboozi, tusobola okukozesa ebibuuzo okuyamba abo ababa batubuuzizza okufumiitiriza n’okutegeera obulungi ensonga eba eyogerwako. (Luk. 10:25-37)
4. Bintu ki bye tulina okulowoozaako okusobola okwogera mu ngeri ematiza? [be-LU lup. 255 but. 1-4, n’akasanduuko; lup. 256 kat. 1, n’akasanduuko] Abatuwuliriza tebajja kukkiriza oba okukolera ku bye twogera okuggyako nga bakakasiza nti bituufu. N’olwekyo tusaanidde okukakasa nti bye tuyigiriza byesigamiziddwa ku Kigambo kya Katonda, Baibuli. (Yok. 17:17) Tusaanidde okuwa obukakafu obuwagira bye twogera. Mu kifo ky’okubakakatiko endowooza zaffe, tulina okubawa obukakafu obumala basobole okukkiriza bye tubagamba nga tumanyi nti abatuwuliriza balina eddembe okutubuuza nti: “Lwaki kye twogerako kituufu?”
5. Kiki kye tusaanidde okulowoozaako bwe tusalawo okukozesa obujulizi obutali mu Baibuli okulaga obutuufu bw’Ebyawandiikibwa. [be-LU lup. 256 but. 3-5, n’akasanduuko] Obukakafu ng’obwo obuva mu nsonda endala, busaanidde okuba nga bulaga nti Baibuli by’eyogera bituufu. Busaanidde okutuukagana n’ekiruubirirwa kyaffe era nga bumatiza gw’oyogera naye. Twandisoose kukozesa Kigambo kya Katonda nga tetunnakozesa ebyo ebivumbuddwa mu sayansi oba obujulizi okuva awalala wonna.
EMBOOZI 1
6. Bujulizi ki obukakasa nti Yesu ddala yaliwo? [w03 6/15 emp. 4-7] Yesu ye muntu aky’asinze okwatiikirira mu byafaayo. Josephus ne Tacitus, bannabyafaayo ab’omu kyasa ekyasooka, ne Pliny the Younger, omuwandiisi ow’omu kyasa eky’okubiri, baayogera ku Yesu n’abayigirizwa be. Ebyo Yesu bye yayigiriza ng’ali ku Lusozi, bikutte ku bulamu bw’abantu bangi. (Mat., essuula 5-7) Obubaka obukwata ku kukomererwa kwa Yesu obuli mu Baibuli, wadde nga bangi tebabukkiririzaamu, bulaga nti ebyo ebigirimu ebikwata ku bulamu n’obuweereza bwa Yesu, bituufu. (1 Kol. 1:22, 23) Okugatta ku ekyo, obunyiikivu abagoberezi ba Yesu bwe baalaga nga beenyigira mu buweereza wadde nga baali bayigganyizibwa nnyo, bukakasa nti Yesu yaliwo ddala. (1 Kol. 15:12-17)
7. ‘Akamwa k’abagolokofu kabawonya’ katya era ennyumba y’abatuukirivu ‘eyimirira’ etya? (Nge. 12:6, 7) [w03 1/15 lup. 30 but. 1-3] Abantu abagolokofu bamanyi ebituufu n’ebikyamu. Beegendereza era ne bakozesa amagezi okwewala akabi, era balabula oba bayamba abalala okukola kye kimu. Banywerera ku kituufu ne bwe boolekagana n’obuzibu.
8. Okuva Baibuli bw’etaliimu lukalala lwa biragiro ebiraga bye tulina okukola ne bye tutalina kukola, tuyinza tutya ‘okuteegera ekyo Yakuwa ky’ayagala’? (Bef. 5:17) [w03 12/1 lup. 21 kat. 3–lup. 22 kat. 3] Okuteegera Yakuwa ky’ayagala kitwetaagisa okumanya ebimusanyusa oba ebimunyiiza. Tetwetaaga lukalala lwa biragiro okusobola okumanya buli kimu kye tulina okukola. Singa omuntu aba ayagala okukendeera ku bunene teyeetaaga lukalala oluliko buli kimu ky’alina okulya oba okwewala. Mu ngeri y’emu, omutume Pawulo bwe yali ayogera ku bikolwa eby’omubiri, yayogera ne ku bintu “ebiringa ebyo” ebiyinza okulemesa omuntu okufuna emikisa gy’Obwakabaka. (Bag. 5:19-23) Omuntu bw’akozesa obusobozi bwe obw’okutegeera asobola okusiima era n’akola Katonda by’ayagala.
9. Misingi ki egiri mu Baibuli egiyinza okuyamba omuntu okwaŋŋanga obwavu oba embeera enzibu ey’eby’enfuna? [w03 8/1 lup. 5 but. 2-5] Omubuulizi 7:12 luyamba omuntu okutegeera nti wadde nga ssente ziyinza okutuwa obukuumi obw’ekigero, naye amagezi agava eri Katonda ge gasinga okuba ag’omugaso. Gayinza okutukuuma kati era ne gatuyamba okufuna obulamu obutaggwaawo. Lukka 14:28 watukubiriza okukulembeza ebintu ebisinga obukulu era n’okukola enteekateeka ey’okukozesa obulungi ssente ku bintu bye twetaaga. Timoseewo ekisooka 6:8 ne Matayo 6:22 wakubiriza abantu okubeera abamativu n’ebyo byokka bye beetaaga basobole okwemalira ku kuweereza Katonda nga balina essubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo.
10. Ekyokulabirako kya Yakuwa eky’okugaba kitukubiriza kukola ki? (Mat. 10:8) [w03 8/1 emp. 20-2] Olw’ekisa kye ekitatugwanira, Yakuwa yeefiiriza nnyo n’akola eteekateeka Omwana we okuwaayo obulamu bwe nga ssaddaaka, tusobole okufuna obulamu obutaggwaawo. (Bar. 3:23, 24) Kino kyanditukubiriza okwewaayo kyeyagalire n’okutwalira abantu ‘amazzi ag’obulamu.’ (Kub. 22:17; Zab. 110:3) Wadde ng’abaweereza ba Katonda bakubirizibwa ‘okwekaliriza empeera gye balifuna,’ tusaanidde okuweereza Katonda olw’okuba tumwagala so si kwenoonyeza byaffe ku bwaffe. (Beb. 6:10; 11:6, 26)
OKUSOMA BAIBULI OKWA BULI WIIKI
11. Empagi ezaayitibwanga Yakini ne Bowaazi ezaali ku mulyango gwa yeekaalu Sulemaani gye yazimba, zaali zikiikirira ki? (1 Bassek. 7:15-22) Erinnya Yakini, ery’empagi eyali ku mukono ogwa ddyo, litegeeza “ajja Kunyweza.” Erinnya Bowaazi, ery’empagi eyali ku mukono ogwa kkono, kirabika lyali litegeeza “Mu Maanyi.” Okuva Olwebbulaniya bwe lusomebwa okuva ku ddyo okudda ku kkono, empagi ezo zaali zitegeeza nti “Ajja kunyweza mu maanyi.” Empagi ezo zaali teziwaniridde kizimbe. Kirabika zaali ziraga nti Katonda yanyweza yeekaalu n’amaanyi ge era n’asiima okusinza okw’amazima okwalinga mu yeekaalu. [1, 1 Bassek. 7:21; it-1 lup. 348 kat. 2; w66 lup. 32]
12. Kyali kikkirizibwa mu Mateeka ga Musa, Sulemaani okuwa Kabaka Kiramu owe Tuulo ebibuga 20? (1 Bassek. 9:10-13) Etteeka eriri mu Eby’Abaleevi 25:23, 24 liyinza okuba nga lyali likwata ku ttaka eryali libeeramu Abaisiraeri lyokka. Kirabika ebibuga Sulemaani bye yawa Kiramu byali bibeeramu abantu abataali Baisiraeri, wadde nga byali mu Nsi Ensuubize. (Kuv. 23:31) Sulemaani kye yakola kiyinza okuba nga kyali kiraga nti asudde muguluka eteeka eryo nga bwe yasuula muguluka eteeka erikwata ku kwewala ‘okwefunira embalaasi ennyingi’ n’abakazi abangi. (Ma. 17:16, 17) Ka kibe ki ekyaliwo, Kiramu teyasiima bibuga ebyo. Oboolyawo abantu abakaafiiri abaali babeera mu bibuga ebyo, baali tebabirabirira bulungi, oba kiyinza okuba nti ekifo kye byalimu tekyali kirungi. [2, w05 7/1 lup. 29]
13. Kiki kye tuyinza okuyigira ku bujeemu ‘bw’omusajja wa Katonda’? (1 Bassek. 13:1-25) Tusaanidde okufuba okutambulira mu makubo ga Yakuwa buli kiseera. Tulina okunoonya obulagirizi bwe buli kiseera, naddala bwe tuba mu mbeera enzibu. Tetulina kukulembeza ndowooza zaffe oba ez’omuntu omulala ne bwe kiba nti omuntu oyo alina ekifo kya buvunaanyizibwa oba nga yeetwala okuba mu kifo eky’obuvunaanyizibwa mu kibiina kya Katonda. [3, w05 7/1 “Ekigambo kya Yakuwa Kiramu—Okunokolayo Ebimu ku Bikulu okuva mu Kitabo kya Bassekabaka Ekisooka”; w98 9/1 lup. 23; w62 lup. 114 kat. 14]
14. Kabaka Asa owa Yuda yalaga atya obuvumu, era kiki kye tuyigira ku kyokulabirako kye? (1 Bassek. 15:11-13) Kabaka Asa yaggyawo okusinza ebifaananyi mu Yuda n’abenzi abaali mu yeekaalu. Yagoba jjajja we omukazi eyali kyewaggula ku bwa nnamasole n’ayokya ne ‘kifaananyi eky’omuzizo’ jjajja we kye yali akoze. Mu ngeri y’emu, naffe twandifubye okutumbula okusinza okulongoofu nga tuyitira mu kubuulira n’okuyigiriza, era nga twesamba bakyewaggula. [4, w05 7/1 “Ekigambo kya Yakuwa kiramu—Okunokolayo Ebimu ku Bikulu Okuva mu Katabo kya Bassekabaka Ekisooka”; w93 11/15 lup. 17 kat. 20]
15. Ekyo ekyatuuka ku Kabaka Akabu ne Nabosi kiraga kitya akabi akali mu kwekubagiza? (1 Bassek. 21:1-16) Kabaka Akabu yatandika okwekubagiza oluvannyuma lwa Nabosi okugaana okumuguza ekibanja kye. Nabosi bwe yagaana okutunda ekibanja kye, Kwiini Yezeberi mukyala wa Akabu, y’akola enteekateeka Nabosi avunaanibwe eby’obulimba nti avvodde era bwe kityo n’akubibwa amayinja n’afa. Ng’ekyokulabirako kya Akabu bwe kiraga, omuntu eyeekubagiza aba ayolekedde okuggwa mu mitawaana. Olw’okuba omuntu eyeekubagiza aba yeerowoozaako ekisukkiridde, ekyo kiyinza okuba eky’akabi ennyo. Okwekubagiza kuyinza okuviirako omuntu okunyiikaala oba okukuliriza obusonga obutaliimu nga kabaka Akabu bwe yali. Kuleetera omuntu obutalowooza ku balala. Omuntu eyeekubagiza ayinza n’okutandika okutunuulira ensonga enkulu mu ngeri enkyamu era n’atuuka n’okusalawo obubi. Okwekubagiza era kuyinza okunafuya omuntu mu by’omwoyo n’ekisinga obubi ayinza okwekkiriranya singa aba ng’anyigirizibwa, ne kimuviirako okwonoona enkolagana ye ne Katonda. [6, w77 lup. 547]