Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Febwali 15
WIIKI ETANDIKA FEBWALI 15
□ Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:
lv sul. 17 ¶1-10
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Baibuli: Ekyabalamuzi 15-18
Na. 1: Ekyabalamuzi 16:1-12
Na. 2: ‘Ggeyeena ey’Omuliro’ Yesu gye Yayogerako Kye Kiki? (rs-E lup. 173 ¶1-3)
Na. 3: Ensonga Lwaki Yesu Yayita Omulyolyomi “Kitaawe w’Obulimba” (Yok. 8:44)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 15: Weeteekereteekere Okugaba Watchtower ne Awake! Mu bufunze yogera ebitundu ebiri mu magazini ezigabibwa, era bategeeze ebitundu by’olaba nga bye biyinza okusikiriza abantu mu kitundu kyammwe. Teekateeka okwewuunaganya nga kulaga engeri omubuulizi gy’ayinza okweteekerateekera okugaba magazini. Alonda ekitundu ekisinga okutuukagana obulungi n’embeera y’omu kitundu, ekibuuzo, n’ekyawandiikibwa ky’anaakozesa. Oluvannyuma ateekateeka ennyanjula ze nga yeegezaamu engeri gy’anaagabamu buli emu ku magazini ezo.
Ddak. 15: “Ganyulwa mu Kusoma Akatabo Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa.” Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza. Oluvannyuma lw’okukubaganya ebirowoozo, kozesa ekitundu ekiri ku lupapula 70 mu kitabo Ssomero ly’Omulimu okujjukiza abawuliriza ebikwata ku kuddamu ebibuuzo mu nkuŋŋaana z’ekibiina.