Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Apuli 4
WIIKI ETANDIKA APULI 4
Oluyimba 116 n’Okusaba
□ Okusoma Bayibuli okw’Ekibiina:
fy sul. 2 ¶1-6 (Ddak. 25)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Yobu 16-20 (Ddak. 10)
Na. 1: Yobu 18:1-21 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Yesu Yagenda n’Omubiri Gwe ogw’Ennyama mu Ggulu?—rs-E lup. 217 ¶2-5 (Ddak. 5)
Na. 3: Ensonga Lwaki Abafuzi Abategeevu Batendereza Abajulirwa ba Yakuwa—Bar. 13:3 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 15: Fuba Okukozesa Akatabo 2011 Yearbook. Kukubaganya birowoozo. Yogera ku ebyo ebiri mu “Ebbaluwa Okuva eri Akakiiko Akafuzi.” Funayo ababuulizi nga bukyali abanaayogera ku bimu ku byokulabirako ebizzaamu amaanyi ebiri mu katabo Yearbook. Saba abawuliriza boogere ku bintu ebikulu ebiri mu alipoota y’ensi yonna. Fundikira ng’okubiriza bonna okusoma Yearbook bagimaleko.
Ddak. 15: Ebyetaago by’ekibiina. Bwe kiba kituukirawo mu kitundu kyammwe, yogera ku kitundu ekirina omutwe, “Kiki ky’Onooyogerako ng’Osanze Omusiraamu?” ekiri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Noovemba 1999. Lagayo ekyokulabirako.
Oluyimba 103 n’Okusaba