Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Okitobba 21
WIIKI ETANDIKA OKITOBBA 21
Oluyimba 45 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
fg Essomo 15, ekibuuzo 1-4 (Ddak. 30)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: 1 Abassessaloniika 1–2 Abassessaloniika 3 (Ddak. 10)
Na. 1: 1 Abassessaloniika 2:9-20 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Biki Bye Tuyigira ku Bintu Ebirungi n’Ebibi Sulemaani Bye Yakola?—Bar. 15:4 (Ddak. 5)
Na. 3: Bayibuli Eyogera Ki ku ky’Okugattika Enzikiriza?—rs-E lup. 325 ¶1–lup. 326 ¶1 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 15: Biki Bye Tuyigamu? Kukubaganya birowoozo. Musome Makko 1:40-42, Makko 7:32-35, ne Lukka 8:43-48. Mukubaganye ebirowoozo ku ngeri ennyiriri ezo gye ziyinza okutuyambamu mu buweereza bwaffe.
Ddak. 15: “Kozesa Omukutu Gwaffe Ogwa Intaneeti Okuyigiriza Abaana Bo.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Bwe muba mukubaganya ebirowoozo ku katundu 3, nnyonnyola w’osobola okusanga obulagirizi obuweebwa abazadde (“parents’ Guide”), era oyogere ku bumu ku bulagirizi obuweebwa abazadde ku kimu ku bitundu. Bwe muba mukubaganya ebirowoozo ku katundu 4, saba abawuliriza boogere engeri amaka gaabwe gye gakozesezzaamu omukutu gwaffe ogwa Intaneeti mu kusinza okw’amaka. Bwe kiba nti temulina Intaneeti, kubiriza abazadde okukozesa ebitabo ebiri mu lulimi lwammwe ebyakubibwa okuyamba abaana, gamba ng’ekitabo Omuyigiriza Omukulu, Engero za Baibuli, ne brocuwa empya “Bye Njiga mu Bayibuli.” Saba abawuliriza boogere engeri gye bakozesezzaamu ebitabo bino okuyamba abaana baabwe.
Oluyimba 88 n’Okusaba