EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ABAFIRIPI 1-4
“Temweraliikiriranga Kintu Kyonna”
Okusaba kutuyamba obuteeraliikirira
Bwe tusaba nga tulina okukkiriza, Yakuwa ajja kutuwa emirembe “egisingira ewala okutegeera kwonna”
Ekizibu kye tulina ne bwe kitavaawo, Yakuwa asobola okutuyamba okukigumira. Ayinza n’okutukolera kye tubadde tetusuubira.—1Ko 10:13