LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • ol ekitundu 9 lup. 29-31
  • Eddiini ey’Amazima Eyinza Okukuganyula Emirembe Gyonna!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Eddiini ey’Amazima Eyinza Okukuganyula Emirembe Gyonna!
  • Ekkubo Erituusa Mu Bulamu Obutaggwawo​—Olizudde?
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Abatuukirivu Balisikira Ensi
  • Ebiseera eby’Omu Maaso eby’Ekitalo!
  • Olusuku lwa Katonda ku Nsi
    Emyoyo gy’Abafu Giyinza Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri?
  • Mikwano gya Katonda Bajja kubeera mu Lusuku Lwe
    Osobola Okubeera Mukwano gwa Katonda!
  • Osobola Okuba n’Ebiseera eby’Omu Maaso eby’Essanyu!
    Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo
  • “Funa Enkolagana Ennungi ne Katonda”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
See More
Ekkubo Erituusa Mu Bulamu Obutaggwawo​—Olizudde?
ol ekitundu 9 lup. 29-31

EKITUNDU 9

Eddiini ey’Amazima Eyinza Okukuganyula Emirembe Gyonna!

Amaka

1. Kiki ekinaabaawo singa ‘tusemberera Katonda’?

YAKUWA ayagala abaweereza be. Bw’oba ng’osinza Yakuwa, ajja kukuwa emikisa kaakano era ne mu biseera eby’omu maaso. Baibuli egamba: “Musembererenga Katonda, naye anaabasembereranga.”​—Yakobo 4:8.

2. Tuyinza tutya okubeera n’enkolagana ennungi ne Katonda, era ekyo kinaakola ki ku kusaba kwaffe?

2 Okusobola okubeera n’enkolagana ennungi ne Katonda, oteekwa okusoma era ogoberere Ekigambo kye. Bw’osaba mu ngeri etuukana ne by’ayagala, Yakuwa ajja kuwuliriza okusaba kwo era ajja kukuddamu. Omutume Yokaana Omukristaayo yawandiika: “Buno bwe bugumu bwe tulina eri [Katonda], nti bwe tusaba ekintu nga bw’ayagala, atuwulira: era bwe tumanya ng’awulira buli kye tusaba, tumanyi nga tulina ebyo bye tumusabye.”​—1 Yokaana 5:14, 15.

3-7. Tuyinza tutya okufuna amagezi agava eri Katonda, era gayinza kutuyamba gatya?

3 Okwongereza ku ekyo, bw’obeera n’enkolagana ennywevu ne Katonda, ajja kukuwa amagezi okusobola okukola ku nsonga zonna z’oyolekagana nazo buli lunaku. Baibuli egamba: “Naye oba ng’omuntu yenna ku mmwe aweebuuka mu magezi, asabenga Katonda.”​—Yakobo 1:5.

4 Amagezi agava eri Katonda gayinza gatya okukuyamba? Gayinza okukuyamba okumanya ebintu ebitasanyusa Yakuwa. Era oyinza okumanya lwaki ebintu ebyo bibi era ne ky’osobola okukola okubyewala. Okumanya okwo kuyinza okukukuuma okuva ku bizibu bingi ebitawaanya abantu. Ng’ekyokulabirako, okugondera amateeka ga Katonda agakwata ku kubeera n’empisa ennungi, kikuuma abantu ba Katonda obutafuna mbuto ze bateeyagalidde, endwadde ezisaasanyizibwa mu bukaba era n’obufumbo bwabwe ne butasasika.

5 Kiki ekirala amagezi agava eri Katonda kye gayinza okukukolera? Gayinza okukuyamba okufuna emiganyulo mingi mu bulamu. Gayinza okukuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi gamba ng’engeri y’okukozesaamu ssente zo. Ojja kusobola okubeera n’ebiruubirirwa ebirungi era weesambe ebiruubirirwa ebitalina miganyulo gya lubeerera.

Abazadde n’omwana waabwe

6 Era amagezi agava eri Katonda gayinza okukuyamba mu ngeri ey’okukolaganamu n’abalala. Oyinza okubeera n’obulamu bw’amaka obw’essanyu. Oyinza okufuna emikwano egya nnamaddala era egy’olubeerera, era oyinza n’okussibwamu ekitiibwa abo abataweereza Katonda.

7 Okwongereza ku ebyo, amagezi agava eri Katonda gajja kulongoosa endowooza gy’olina ku bulamu. Gajja kukuyamba okwaŋŋanga ebizibu by’omu bulamu. Era, ojja kubeera n’endowooza entuufu ku biseera eby’omu maaso. N’ekirala endowooza eyo ennungi ejja kukuyamba okubeera omulamu obulungi mu birowoozo ne mu mubiri.​—Engero 14:30; Isaaya 48:17.

8. Bw’oba ng’oweereza Katonda, biki by’otojja kutya?

8 Bw’oba ng’oweereza Katonda ow’amazima, tojja kweraliikirira bintu ebitera okweraliikiriza abo abatamuweereza. Olw’okubanga okimanyi nti abafu bali magombe era nga tebalina kye bamanyi, tojja kubatya. Era olw’okubanga olina obwesige mu kisuubizo kya Katonda eky’okuzuukiza abafu, tojja kutya kufa. Ate era, olw’okuba okimanyi nti Katonda y’asinga amaanyi, tojja kutya ddogo.​—Yokaana 8:32.

Abatuukirivu Balisikira Ensi

Maama asitudde omwana we

9-11. Baani abanaabeera mu Lusuku lwa Katonda, era baani abataabeereyo?

9 Bw’obeera n’enkolagana ennungi ne Katonda, tojja kutya biseera bya mu maaso. Nga bwe tumaze okulaba, Baibuli yalagula ku bizibu bingi bye tulaba mu nsi leero. Yakuwa atutegeeza nti ebintu ebyo bya kaseera buseera; Obwakabaka bwe buli kumpi okufuula ensi eno okuba olusuku lwe.​—Lukka 21:10, 11, 31; 23:43.

10 Abo bokka abafunye enkolagana ennungi ne Yakuwa era ne bamuweereza, be bajja okubeera mu Lusuku olwo. Baibuli egamba: “Kubanga waliba akaseera katono, n’omubi talibeerawo. Weewaawo, ekifo kye olikitunuulira ddala, naye talibeerawo. Naye abawombeefu balisikira ensi; era banaasanyukiranga emirembe emingi.”​—Zabbuli 37:10, 11.

11 Abo abagaana mu bugenderevu okugoberera amateeka ga Katonda amatuukirivu, bajja kuzikirizibwa. (2 Abassesaloniika 1:8, 9) Tebalibeerawo nate. Bajja kuzikirizibwa wamu ne Setaani ne balubaale be. (Okubikkulirwa 20:10, 14) Naye abo abayiga ebikwata ku Yakuwa era ne bamuweereza, bajja kusanyukiranga emirembe emingi mu Lusuku lwa Katonda ku nsi.

Ab’oluganda baliira wamu emmere mu Lusuku kwa Katonda

Ebiseera eby’Omu Maaso eby’Ekitalo!

12. Kiki Baibuli ky’eyogera ku biseera eby’omu maaso?

12 Yakuwa alina ebintu bingi by’ategekedde abo abamutya! Weekenneenye Ekigambo kye bye kyogera ku bulamu mu Lusuku lwa Katonda ku nsi:

  • Emmere nnyingi ey’okulya: “Wanaabangawo emmere enkalu nnyingi mu nsi ku ntikko y’ensozi.”​—Zabbuli 72:16.

  • Aw’okusula awalungi: “Balizimba ennyumba ne basulamu.”​—Isaaya 65:21.

  • Emirimu emirungi: “Abalonde bange balirwawo nga balya omulimu gw’engalo zaabwe. Tebalikolera bwereere.”​—Isaaya 65:22, 23.

  • Tewalibaawo bulwadde: “N’oyo atuulamu talyogera nti Ndi mulwadde.”​—Isaaya 33:24.

  • Tewalibaawo bulema: “Awo amaaso g’omuzibe w’amaaso ne galyoka gazibuka, n’amatu g’omuggavu w’amatu galigguka. Awo awenyera n’alyoka abuuka ng’ennangaazi, n’olulimi lwa kasiru luliyimba.”​—Isaaya 35:5, 6.

  • Tewalibaawo bulumi, nnaku, wadde okufa: “[Katonda] alisangula buli zziga mu maaso gaabwe; era okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa: eby’olubereberye biweddewo.”​—Okubikkulirwa 21:4.

  • Tewalibaawo ntalo: “[Katonda] aggyawo entalo okutuusa ku nkomerero y’ensi.”​—Zabbuli 46:9.

  • Obulamu obutaggwaawo: “Abatuukirivu balisikira ensi, banaagibeerangamu emirembe gyonna.”​—Zabbuli 37:29.

Ebiyiriro

13. Ani yekka asobola okufuula ensi eno olusuku lwa Katonda, era lwaki?

13 Abantu tebasobola kuleetawo bintu ng’ebyo, naye Yakuwa alina amaanyi okukola buli ky’aba agambye. Tewali kiyinza kumulobera kukola ekyo ky’aba ayagala okukola. Baibuli egamba: ‘Tewali kigambo ekiva eri Katonda ekitalituukirira.’​—Lukka 1:37, NW.

14. Oyinza otya okutambulira mu kkubo erituusa mu bulamu obutaggwaawo?

14 Ng’akozesa Abajulirwa be, Yakuwa awa abantu yonna gye bali omukisa ‘ogw’okuyingira mu mulyango omufunda’ era n’okutambulira mu kkubo erituusa mu bulamu obutaggwaawo. Naawe beera omu ku bantu abasanyufu abakkiriza okuyitibwa okwo. Beera mu ddiini ey’amazima ofune emikisa gya Yakuwa emirembe gyonna!​—Matayo 7:13, 14.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share