Bayibuli Ogitwala Otya?
Ogitwala . . .
ng’ekitabo ky’abazungu?
ng’ekitabo ky’engero n’enfumo?
ng’Ekigambo kya Katonda?
BAYIBULI KY’EGAMBA
“Buli kyawandiikibwa kyaluŋŋamizibwa Katonda.”—2 Timoseewo 3:16, Enkyusa ey’Ensi Empya.
OMUGANYULO OGULI MU KUMANYA EKYO
Oba osobola okufuna eby’okuddamu ebimatiza mu bibuuzo ebikulu bye weebuuza.—Engero 2:1-5.
Oba osobola okufuna obulagirizi obusobola okukuyamba mu bulamu bwo.—Zabbuli 119:105.
Oba n’essuubi ekkakafu ery’ebiseera eby’omu maaso.—Abaruumi 15:4.
TUSOBOLA OKUKKIRIZA EKYO BAYIBULI KY’EGAMBA
Lwa nsonga nga ssatu:
Ekwatagana. Bayibuli yawandiikibwa abantu nga 40 ab’enjawulo mu bbanga erisukka mu myaka 1,600. Abasinga obungi ku bo tebaalabaganako. Kyokka bye baawandiika bikwatagana!
Erimu ebyafaayo ebituufu. Abawandiisi b’ebyafaayo tebatera kwogera ku kuwangulwa kw’amawanga gaabwe. Naye abawandiisi ba Bayibuli baawandiika ku nsobi zaabwe n’ez’eggwanga lyabwe.—2 Ebyomumirembe 36:15, 16; Zabbuli 51:1-4.
Obunnabbi bwayo butuukirira. Bayibuli yayogera ku kuzikirizibwa kw’ekibuga Babulooni ng’ebulayo emyaka nga 200. (Isaaya 13:17-22) Yalaga n’engeri ekibuga ekyo gye kyandizikiriziddwamu awamu n’erinnya ly’oyo eyandikizikirizza!—Isaaya 45:1-3.
Mu Bayibuli mulimu obunnabbi obulala bungi nnyo obwatuukirizibwa. Ekyo si kye twandisuubidde mu Kigambo kya Katonda?—2 Peetero 1:21.
KY’OYINZA OKULOWOOZAAKO
Oganyulwa otya ng’ogoberedde Ekigambo kya Katonda?
Bayibuli eddamu ekibuuzo ekyo mu ISAAYA 48:17, 18 ne 2 TIMOSEEWO 3:16, 17.