OLUYIMBA 19
Eky’Ekiro kya Mukama Waffe
Printed Edition
1. ’Mukolo guno mutukuvu,
Ai Kitaffe Yakuwa.
Dda nnyo ku lunaku luno wayoleka
Obwenkanya n’okwagala.
Omwana gw’endiga gwattibwa;
Abantu bo baanunulwa.
Mukama waffe yatuukiriza kino
Bwe yawaayo obulamu bwe.
2. Omugaati n’envinnyo bino,
Biriwo ’kutujjukiza
Omuwendo ’mungi
ggwe gwe wasasula
Tusobol’o kununulwa.
Tukwata omukolo guno
Okujjukira okufa
Kw’Omwana wo
eyawaayo ’bulamu bwe
Okutununula mu kufa.
3. Tukuŋŋaanye ffe mu maaso go,
Katonda waffe, Yakuwa
Okulaga nti tusiima
okwagala
Okungi kwe watulaga.
Guno ’mukolo mukulu nnyo;
Tuyambe tube bavumu,
Tutambulire mu bigere bya Yesu;
Tujja kufuna obulamu.
(Laba ne Luk. 22:14-20; 1 Kol. 11:23-26.)