Okubudaabudibwa mu Kumanya Okutuufu Okukwata ku Katonda
ERI abantu abamu, Baibuli ky’eyogera ku kwagala kwa Katonda n’ekisa kye, kibaleetera okwebuuza ebibuuzo. Beebuuza: Bwe kiba nti Katonda ayagala okuggyawo obubi, amanyi engeri y’okubuggyawo, era ng’alina n’obusobozi bw’okubuggyawo, lwaki ate obubi bweyongera okubaawo? Ekizibu kye balina, kwe kukwataganya ensonga zino essatu: (1) Katonda y’asinga bonna amaanyi; (2) Katonda wa kwagala era mulungi; ne (3) ebintu ebibi byeyongera bweyongezi okubaawo. Bagamba nti okuva ensonga eyokusatu bw’eri entuufu, olwo nno emu ku nsonga endala ebbiri teyinza kuba ntuufu. Bo bagamba nti Katonda tasobola kukomya bubi oba nti tafaayo.
Nga wayiseewo ennaku eziwerako oluvannyuma lw’okuzikiriza World Trade Center mu New York, omukulembeze w’eddiini omututumufu mu Amerika yagamba: “Emirundi mingi mbuuziddwa ensonga lwaki Katonda akkiriza obutyabaga n’okubonaabona okubaawo. Ekituufu kiri nti, simanyidde ddala kya kuddamu, ekiyinza wadde okummatiza nze kennyini.”
Profesa omu eyeekenneenya ensonga ezikwata ku ddiini bwe yali ayogera ku bigambo bya munnaddiini oyo yagamba nti, yawuniikirira nnyo “olw’ebigambo ebirungi ebikwata ku Katonda” abakulembeze b’eddiini bye baabuulira. Era yawagira endowooza y’omwekenneenya omu eyawandiika: “Okuba nti tetusobola kutegeera lwaki okubonaabona we kuli, kikwatagana n’obutaba na busobozi bw’okutegeera Katonda.” Naye ddala tekisoboka kutegeera ensonga lwaki Katonda akkiriza obubi okubaawo?
Ensibuko y’Obubi
Okwawukana ku ebyo abakulembeze b’eddiini bye bayinza okwogera, Baibuli tegamba nti tekisoboka kutegeera ensonga lwaki Katonda akkiriza obubi okubaawo. Ensonga enkulu eyinza okutusobozesa okutegeera lwaki obubi weebuli, kwe kumanya nti Yakuwa teyatonda nsi nga mbi. Yatonda abantu abaasooka nga batuukiridde, era nga tebalina kibi. Yakuwa yatunuulira buli kye yali atonze, era n’alaba nga ‘kirungi nnyo.’ (Olubereberye 1:26, 31) Kyali kigendererwa kye Adamu ne Kaawa bagaziye embeera ennungi ezaali mu Adeni okutuuka mu nsi yonna era n’okugijjuza abantu abasanyufu nga bali wansi w’obufuzi bwa Katonda.—Isaaya 45:18.
Obubi bwatandikira ku kitonde eky’omwoyo ekyali ekyesigwa eri Katonda mu kusooka, naye oluvannyuma ne kyegomba okusinzibwa. (Yakobo 1:14, 15) Obujeemu bw’ekitonde ekyo bweyoleka ku nsi bwe kyakubiriza abantu ababiri abasooka okukyegattako mu kujeemera Katonda. Mu kifo ky’okugondera ekiragiro kya Katonda eky’obutalya oba okukwata ku muti ogw’okumanya obulungi n’obubi, Adamu ne Kaawa baanoga ebibala byagwo ne balyako. (Olubereberye 3:1-6) Mu kukola ekyo, tebaajeemera Katonda kyokka, naye era baalaga nti baali baagala okwefuga bokka.
Ensonga Ekwata ku Bufuzi Yaleetebwawo
Obujeemu obwo obwali mu Adeni bwaleetawo ensonga ekwata ku bufuzi, kwe kugamba, okusoomooza obufuzi obw’obutonde bwonna. Abantu abo abaali beewaggudde baabuusabuusa oba nga ddala Yakuwa yali afuga bulungi ebitonde bye. Ddala Omutonzi yali agwanidde okwetaaza abantu okumugondera mu bujjuvu? Abantu bandibadde bulungi okusingawo nga beefuga bokka?
Engeri Yakuwa gye yakwatamu ensonga eyo ey’okubuusabuusa obufuzi bwe, yayoleka okwagala kwe okutuukiridde, obwenkanya, amagezi n’amaanyi. Yandisobodde okukozesa amaanyi ge okumalawo obujeemu mu kiseera ekyo kyennyini. Ekikolwa ekyo kyandirabise ng’eky’obwenkanya, okuva Katonda bwe yali alina obwannannyini okukikola. Naye singa yakola bw’atyo, tekyandizzeemu bibuuzo ebyali bireeteddwawo. Ku luuyi olulala, Katonda yandibuusizza ekibi amaaso. Okukola bw’atyo kiyinza okulabikira abamu leero ng’ekyandibadde ekikolwa eky’okwagala. Kyokka, ekyo tekyandizzeemu ekyo Setaani kye yagamba nti abantu bandibadde bulungi okusingawo nga beefuga bokka. Okugatta ku ekyo, singa yakola bw’atyo, tekyandikubiriza abalala okuva ku makubo ga Yakuwa? Ekyandivudde mu ebyo, kwandibadde kubonaabona okutakoma.
Ng’akozesa amagezi ge, Yakuwa akkirizza abantu okwefuga bokka okumala akabanga. Wadde nga kino kimwetaagisizza okulekawo obubi okumala akaseera, abantu bafunye omukisa okulaga oba nga ddala basobola okwefuga bokka obulungi awatali Katonda nga bagoberera emitindo egyabwe ku bwabwe egy’ekirungi n’ekibi. Biki ebivuddemu? Mu byafaayo by’omuntu mubaddemu entalo, obutali bwenkanya, okunyigirizibwa n’okubonaabona. Ku nkomerero ya byonna, ng’okwewaggula ku Yakuwa kulemereddwa, ensonga eyaleetebwawo mu Adeni ejja kuba egonjooleddwa obutaddamu kubaawo nate.
Ekyo nga tekinnaba kubaawo, Katonda ayolesezza okwagala kwe ng’atuwa Omwana we, Yesu Kristo, eyawaayo obulamu bwe ng’ekinunulo. Kino kisobozesa abantu abawulize okusumululwa mu kibi n’okufa ebyava mu bujeemu bwa Adamu. Ekinunulo kitemedde oluwenda abo abakkiririza mu Yesu okufuna obulamu obutaggwaawo.—Yokaana 3:16.
Yakuwa atukakasa nti okubonaabona okuliwo kwa kaseera buseera. “Waliba akaseera katono, n’omubi talibeerawo,” bw’atyo omuwandiisi wa Zabbuli bwe yagamba. “Ekifo kye olikitunuulira ddala, naye talibeerawo. Naye abawombeefu balisikira ensi; era banaasanyukiranga emirembe emingi.”—Zabbuli 37:10, 11.
Ebiseera eby’Omu Maaso Ebirimu Obutebenkevu n’Essanyu
Okutuukirizibwa kw’obunnabbi bwa Baibuli kulaga nti ekiseera Katonda wanaggirawo obulwadde, ennaku n’okufa, kiri kumpi okutuuka. Weetegereze engeri Yokaana gye yayolesebwamu ebintu ebyo eby’ekitalo eby’omu kiseera eky’omu maaso. Yawandiika: “Ne ndaba eggulu eriggya n’ensi empya: kubanga eggulu ery’olubereberye n’ensi ey’olubereberye nga bigenze: n’ennyanja nga tekyaliwo. . . . Naye Katonda yennyini anaabeeranga wamu nabo, Katonda waabwe: naye alisangula buli zziga mu maaso gaabwe; era okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa: eby’olubereberye biweddewo.” Okusobola okukakasa obutuufu bw’ebisuubizo ebyo, Yokaana yagambibwa: “Wandiika: kubanga ebigambo ebyo bya bwesige era bya mazima.”—Okubikkulirwa 21:1-5.
Naye ate obukadde n’obukadde bw’abantu abatalina musango abafudde bukya obujeemu obwo bubalukawo mu Adeni? Yakuwa yasuubiza nti ajja kukomyawo abantu kati abeebase mu kufa. Omutume Pawulo yawandiika: “Nnina essuubi eri Katonda . . . nti walibaawo okuzuukira kw’abatuukirivu era n’abatali batuukirivu.” (Ebikolwa 24:15) Abo balina essuubi ery’okubeera mu nsi ‘ey’obutuukirvu.’—2 Peetero 3:13.
Okufaananako taata omwagazi bw’akkiriza omwana we okulongoosebwa abeere bulungi wadde ng’amanyi nti kijja kumuleetera obulumi, mu ngeri y’emu, ne Yakuwa akkiriza abantu okutuukibwako ebintu ebibi ku nsi okumala akaseera. Kyokka, abo bonna abakola Katonda by’ayagala, bajja kufuna emikisa emirembe gyonna. Bw’ati Pawulo bwe yakinnyonnyola: “Ebitonde byateekebwa okufugibwa obutaliimu, si lwa kwagala kwabyo wabula ku bw’oyo eyabifugisa, mu kusuubira nti era n’ebitonde byennyini nabyo biriweebwa eddembe okuva mu kufugibwa okuvunda okuyingira mu ddembe ery’ekitiibwa ky’abaana ba Katonda.”—Abaruumi 8:20, 21.
Mazima ddala gano mawulire malungi—si ng’ago ge tulaba ku ttivi oba ge tusoma mu mpapula z’amawulire. Ge mawulire agasingayo okuba amalungi agava eri ‘Katonda ababudaabuda,’ atufaako ennyo.—2 Abakkolinso 1:3.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 6]
Ebiseera ebiyiseewo biraze nti abantu tebasobola kwefuga bulungi bokka awatali bulagirizi bwa Katonda
[Ensibuko y’ebifaananyi ebiri ku lupapula 6]
Somalian family: UN PHOTO 159849/M. GRANT; atom bomb: USAF photo; concentration camp: U.S. National Archives photo