LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w09 3/15 lup. 20-24
  • Yakuwa Agwanidde Okutenderezebwa Abantu Bonna

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yakuwa Agwanidde Okutenderezebwa Abantu Bonna
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Emirimu Gye egy’Ekitalo
  • Emirimu gya Yakuwa egy’Ekitalo n’Engeri Ze
  • Yakuwa Mwesigwa
  • Amaanyi ga Yakuwa ag’Ekitalo
  • Emisingi Egyesigika era egy’Olubeerera
  • Omununuzi Waffe Omutukuvu era ow’Ekitiibwa
  • Ebirimu
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • Mutendereze Yakuwa olw’Ebikolwa Bye eby’Ekitalo!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 3/15 lup. 20-24

Yakuwa Agwanidde Okutenderezebwa Abantu Bonna

“Mutendereze Ya, mmwe abantu!”​—ZAB. 111:1, NW.

1, 2. Ekigambo “Aleruuya” kitegeeza ki, era kikozesebwa kitya mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani?

“ALERUUYA!” Abantu batera okwogera ekigambo ekyo mu masinzizo ga Kristendomu era abamu bamanyi n’okukikozesa nga banyumya. Naye abasinga tebamanyi makulu gaakyo, era n’enneeyisa y’abamu ku abo abakikozesa teweesa Katonda kitiibwa. (Tito 1:16) Okusinziira ku nkuluze emu, ekigambo “Aleruuya kikozesebwa abawandiisi ba zabbuli ezitali zimu okukubiriza abantu bonna okubeegattako mu kutendereza Yakuwa.” Mu butuufu, abeekenneenya ba Baibuli abawerako bagamba nti ekigambo “Aleruuya” kitegeeza “‘Mutendereze Ya,’ [kwe kugamba] Yakuwa.”

2 Bwe kityo, ebigambo ebyo ebisangibwa mu Zabbuli 111:1, mu New World Translation byavvuunulwa, “Mutendereze Ya, mmwe abantu!” Mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani ebigambo ebyo bisangibwa emirundi ena mu Okubikkulirwa 19:1-6, nga bikwataganyizibwa n’okujaguza olw’okuzikirizibwa kw’amadiini ag’obulimba gazikiriziddwa. Kino bwe kinaatuukirizibwa, abasinza ab’amazima bajja kuba n’ensonga ey’enjawulo okwogera nti “Aleruuya” mu ngeri eweesa ekitiibwa.

Emirimu Gye egy’Ekitalo

3. Ensonga enkulu lwaki tukuŋŋaana bulijjo y’eruwa?

3 Omuwandiisi wa Zabbuli 111 awa ensonga eziwerako lwaki Yakuwa agwanidde okutenderezebwa abantu bonna. Olunyiriri 1 lugamba nti: “[Nja kutendereza] Mukama n’omutima gwange gwonna, mu kibiina eky’abatuukirivu abateesa, ne mu kkuŋŋaaniro.” Abajulirwa ba Yakuwa leero nabo bakkiriziganya n’ebigambo ebyo. Ensonga enkulu lwaki tukuŋŋaana bulijjo, mu nkuŋŋaana entono n’ennene, kwe kutendereza Yakuwa.

4. Abantu bayinza batya okunoonya emirimu gya Yakuwa?

4 “Emirimu gya Mukama mikulu, ginoonyezebwa abo bonna abagisanyukira.” (Zab. 111:2) Weetegereze ekigambo “ginoonyezebwa.” Okusinziira ku kitabo ekimu, olunyiriri olwo lwogera ku bantu “abeekenneenya era ne bafumiitiriza” ku mirimu gya Katonda. Ebintu Yakuwa bye yatonda biraga nti yalina ekigendererwa. Enjuba, ensi n’omwezi yabiteekera ddala mu kifo ekituufu ensi w’esobolera okufuna ekitangaala, ebbugumu, ebiseera eby’enkuba n’eby’omusana, era ng’obudde busobola okuziba n’okukya.

5. Kiki abantu kye bazudde bwe beeyongedde okutegeera ebikwata ku nsi?

5 Bannasayansi bayize bingi ebikwata ku kifo ensi w’eri mu kibinja ky’emmunyeenye mwe tuli, ne ku ngeri obunene bw’omwezi, obuzito bwagwo, n’engeri gye gutambulamu gye biganyulamu ensi. Engeri ensi n’emmunyeenye ezigyetoolodde gye byategekebwamu esobozesa ensi okubeera n’ebiseera gamba ng’eby’omusana, eby’enkuba, n’eby’obutiti. Ate era kizuuliddwa nti mu butonde mulimu amanyi agatali gamu agasobozesa ebintu byonna okukola mu ngeri ennuŋŋamu. Bwe kityo, mu kiwandiiko kye ekirina omutwe “The Designed ‘Just So’ Universe,” yinginiya omu omukugu yagamba nti: “Kati kyangu ddala okutegeera lwaki bannasayansi bangi bakyusizza endowooza yaabwe mu myaka 30 egiyise, nga kati bagamba nti kizibu nnyo okukkiriza nti ensi yaggyawo buzzi yokka. Gye tukoma okutegeera ebikwata ku nsi, gye tukoma okulaba obukakafu nti ebintu biteekwa okubaako eyabikola.”

6. Muli owulira otya olw’engeri Katonda gye yakolamu omuntu?

6 Omulimu gwa Katonda omulala ogw’ekitalo ye ngeri gye yatutondamu. (Zab. 139:14) Katonda yatuwa obwongo, omubiri ogulina buli ekyetaagisa okweyimirizaawo, ssaako obusobozi obw’okukola ebintu ebitali bimu. Ng’ekyokulabirako, yatukola nga tusobola okwogera n’okuwulira, gattako okuwandiika n’okusoma. Obusobozi obwo abantu bangi babulina. Olina n’ekintu ekirala ekyakolebwa mu ngeri ey’ekitalo​—omubiri ogusobola okuyimirira obusimba. Mu butuufu, engeri omubiri gwo gye gukolamu ne gye gukusobozesa okukola ebintu eby’enjawulo ewuniikiriza. Ng’oggyeko ekyo, engeri obusimu bw’omubiri gye buyambamu obwongo bwo n’omubiri gwo okukola obulungi, ya waggulu nnyo ku kintu kyonna bannasayansi kye baali bakoze. Ate jjukira nti n’ebintu ebirungi abantu bye bakola babikola lwa kuba balina obwongo n’omubiri Katonda bye yabawa. K’abe yinginiya asingayo obukugu tasobola kukola kintu kirungi era kya mugaso ekifaananako engalo zo ekkumi. Kati ggwe weebuuze, ‘Kyandisobose okusiiga ebifaananyi ebirungi ennyo, oba okuzimba ebizimbe ebiwuniikiriza awatali ngalo Katonda ze yatuwa?’

Emirimu gya Yakuwa egy’Ekitalo n’Engeri Ze

7. Lwaki Baibuli twandigitutte ng’ogumu ku mirimu gya Katonda egy’ekitalo?

7 Waliwo n’emirimu emirala egy’ekitalo Yakuwa gye yakolera abantu egyogerwako mu Baibuli. Ate nayo yennyini erimu ebintu ebikwatagana mu ngeri eyeewuunyisa. Obutafaananako kitabo kirala kyonna, Baibuli yo ‘yaluŋŋamizibwa Katonda era ya mugaso mu kuyigiriza.’ (2 Tim. 3:16) Ng’ekyokulabirako, ekitabo ekisooka mu Baibuli, Olubereberye, kiraga engeri Katonda gye yamalawo obubi mu kiseera kya Nuuwa. Ekitabo ekyokubiri, Okuva, kyogera ku ngeri Yakuwa gye yalagamu nti ye Katonda ow’amazima bwe yanunula Abaisiraeri okuva mu buddu e Misiri. Omuwandiisi wa zabbuli yandiba ng’ekyo kye kyamuli mu birowoozo bwe yagamba nti: “Omulimu [gwa Yakuwa] gwa kitiibwa, gwa bukulu: n’obutuukirivu bwe bubeerera emirembe gyonna. Ajjukizizza emirimu gye egy’ekitalo: Mukama wa kisa, ajjudde okusaasira.” (Zab. 111:3, 4) Tokkiriza nti Yakuwa bye yakola mu biseera eby’emabega, ng’otaddeko n’ebyo by’akoze mu kiseera kyaffe, bitujjukiza ‘ekitiibwa kye n’obukulu bwe’?

8, 9. (a) Emirimu gya Katonda gyawukana gitya ku gy’abantu? (b) Engeri za Katonda ezisinga okukusikiriza ze ziruwa?

8 Weetegereze nti omuwandiisi wa zabbuli oyo era ayogera ku ngeri za Yakuwa ez’ekitalo, gamba ng’obutuukirivu, ekisa, n’obusaasizi. Tukimanyi bulungi nti abantu abatatuukiridde tebatera kukola bintu bya butuukirivu. Batera okukola ebintu olw’omululu, obuggya, n’amalala. Kino kyeyolekera mu by’okulwanyisa nnamuzisa bye bakola okulwana entalo, ne mu makubo amabi ge bayitamu okwegaggawaza, ebiviiriddeko obukadde n’obukadde bw’abantu abatalina musango okubonaabona. Era ebintu ebimu abantu bye bakola ebirabika ng’ebirungi bireetera abalala okunyigirizibwa. Ng’ekyokulabirako, Abamisiri baakozesanga abaddu okuzimba amasiro amagulumivu ng’ensozi mwe baazikanga bakabaka baabwe ab’amalala. Ng’oggyeko ekyo, bingi ku ebyo abantu bye bakola leero tebikoma ku kuleetera balala kubonaabona kyokka, naye ‘by’onoona n’ensi.’​—Soma Okubikkulirwa 11:18.

9 Ng’emirimu gy’abantu gyawukana nnyo ku mirimu gya Yakuwa egy’obutuukirivu! Emirimu gye egyo mwe muli enteekateeka gye yakola okununula abantu aboonoonyi. Mu kuteekawo ekinunulo, Katonda ‘yalaga obutuukirivu bwe.’ (Bar. 3:25, 26) Mu butuufu, “obutuukirivu bwe bubeerera emirembe gyonna”! Era Yakuwa alaze ekisa mu ngeri gy’akwatamu abantu aboonoonyi. Oluusi yabeegayiriranga bave mu makubo gaabwe amabi, bakole ekituufu.​—Soma Ezeekyeri 18:25.

Yakuwa Mwesigwa

10. Yakuwa yalaga atya obwesigwa mu kutuukiriza endagaano gye yakola ne Ibulayimu?

10 “Awa emmere abo abamutya: anajjukiranga endagaano ye emirembe gyonna.” (Zab. 111:5) Kirabika wano omuwandiisi wa zabbuli yali ayogera ku ndagaano ya Ibulayimu. Yakuwa yasuubiza okuwa ezzadde lya Ibulayimu omukisa era yagamba nti bandiwangudde abalabe baabwe. (Lub. 22:17, 18; Zab. 105:8, 9) Mu kutuukirizibwa kw’ebisuubizo ebyo okwasooka, ezzadde lya Ibulayimu lyafuuka eggwanga lya Isiraeri. Eggwanga eryo lyali limaze ebbanga ddene mu buddu e Misiri, naye ‘Katonda yajjukira endagaano ye gye yalagaana ne Ibulayimu’ n’abanunula. (Kuv. 2:24) Ebintu Yakuwa bye yabakolera biraga nti mugabi nnyo. Yabaliisanga mu by’omubiri ne mu by’omwoyo. (Ma. 6:1-3; 8:4; Nek. 9:21) Mu byasa ebyaddirira, Abaisiraeri baajeemera Katonda emirundi n’emirundi, wadde nga yabatumiranga bannabbi okubakubiriza okudda gy’ali. Nga wayise emyaka egisukka mu 1,500 bukya abanunula okuva e Misiri, Katonda yatuma Omwana we eyazaalibwa omu yekka. Abayudaaya abasinga obungi baagaana okukkiriza Yesu era baamuwaayo n’attibwa. Oluvannyuma Yakuwa yassaawo eggwanga eriggya, “Isiraeri wa Katonda” ow’omwoyo. Kristo awamu n’eggwanga lino ly’ezzadde lya Ibulayimu ery’akabonero Yakuwa lye yayogerako nti mwe yandiyitidde okuwa abantu bonna omukisa.​—Bag. 3:16, 29; 6:16.

11. Mu ngeri ki Yakuwa ‘gy’ajjukira endagaano ye’ ne Ibulayimu?

11 Yakuwa ‘akyajjukira endagaano ye’ awamu n’emikisa gye yasuubiza okuyitira mu ndagaano eyo. Leero, awa abantu be emmere nnyingi ey’eby’omwoyo mu nnimi ezisukka mu 400. Ate era, addamu okusaba kwaffe ng’atuwa ebyetaago byaffe eby’omubiri, nga kino kituukana n’ebigambo bino: “Otuwenga buli lunaku emmere yaffe ey’olunaku.”​—Luk. 11:3; Zab. 72:16, 17; Is. 25:6-8.

Amaanyi ga Yakuwa ag’Ekitalo

12. Isiraeri ey’edda yaweebwa etya “obusika obw’amawanga”?

12 “Alaze abantu be obuyinza obw’emirimu gye, ng’abawa obusika obw’amawanga.” (Zab. 111:6) Omuwandiisi wa zabbuli wano ayinza okuba yali ayogera ku kununulibwa kw’Abaisiraeri mu ngeri ey’ekyamagero okuva e Misiri, ekintu ekyali ekikulu ennyo mu byafaayo byabwe. Yakuwa bwe yabakkiriza okuyingira mu Nsi Ensuubize, Abaisiraeri baawangula amawanga agaali ebuvanjuba n’ebugwanjuba w’Omugga Yoludaani. (Soma Nekkemiya 9:22-25.) Yee, Yakuwa yawa Isiraeri “obusika obw’amawanga.” Nga Katonda yayolesa amaanyi ag’ekitalo!

13, 14. (a) Katonda yayolesa atya amaanyi ge ku Babulooni, ekintu omuwandiisi wa zabbuli ky’ayinza okuba nga kye yali ayogerako? (b) Bikolwa ki ebirala eby’okununula Yakuwa bye yakola?

13 Naye tukimanyi bulungi nti wadde nga Yakuwa yabakolera ebirungi ebyo byonna, Abaisiraeri tebaamuwa kitiibwa wadde okukiwa jjajjaabwe Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo. Baajeemera Katonda emirundi n’emirundi okutuusa lwe yaleka Abababulooni ne babaggya mu nsi yaabwe, ne babatwala mu buwaŋŋanguse. (2 Byom. 36:15-17; Nek. 9:28-30) Abeekenneenya ba Baibuli abamu bagamba nti Zabbuli 111 yawandiikibwa nga Abaisiraeri bavudde mu buwaŋŋanguse e Babulooni. Bwe kiba kityo, ekyo kirina okuba nga nakyo kyaleetera omuwandiisi waayo okutendereza Yakuwa olw’obwesigwa bwe n’amaanyi ge. Katonda yayoleka obwesigwa bwe n’amaanyi ge ng’anunula Abayudaaya okuva e Babulooni​—ensi eyali emanyiddwa nti teta bantu b’etutte mu buwambe.​—Is. 14:4, 17.

14 Nga wayise ebyasa nga bitaano, Yakuwa yakozesa amaanyi ge mu ngeri esingako awo bwe yanunula abantu abaali beenenyezza okuva mu kibi n’okufa. (Bar. 5:12) Ekimu ku byavaamu kwe kuba nti abantu 144,000 baafuuka abagoberezi ba Kristo abaafukibwako amafuta. Mu 1919, Yakuwa yakozesa amaanyi ge okununula ensigalira y’abaafukibwako amafuta okuva mu bufuge bw’eddiini ez’obulimba. Era ebintu byonna bye basobodde okukola mu kiseera kino eky’enkomerero, babikoze lwa maanyi Katonda g’abawadde. Bwe banaakuuma obwesigwa bwabwe okutuusa ku kufa, bajja kwegatta ku Yesu Kristo mu ggulu, bafuge ensi era bayambe abantu abawulize abanaagibeerako. (Kub. 2:26, 27; 5:9, 10) Bajja kusikira ensi mu ngeri esingira ewala ku eyo ey’Abaisiraeri ab’edda.​—Mat. 5:5.

Emisingi Egyesigika era egy’Olubeerera

15, 16. (a) Emirimu gy’emikono gya Katonda gizingiramu ki? (b) Mateeka ki Katonda ge yawa Isiraeri ey’edda?

15 “Emirimu egy’emikono gye ge mazima n’omusango; ebiragiro bye byonna binywera. Biteekebwawo emirembe n’emirembe, bikolebwawo mu mazima n’obutuukirivu.” (Zab. 111:7, 8) “Emirimu egy’emikono [gya Yakuwa]” gizingiramu amayinja abiri okwawandiikibwa amateeka ekkumi agaaweebwa Isiraeri. (Kuv. 31:18) Amateeka ago, nga mw’otwalidde n’ebiragiro ebirala ebiri mu ndagaano y’Amateeka ga Musa, byesigamizibwa ku misingi egyesigika era egy’olubeerera.

16 Ng’ekyokulabirako, erimu ku mateeka agaali ku mayinja ago lyali ligamba: “Nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya.” Era lyayongerako nti Yakuwa ‘addiramu abantu nga nkumi na nkumi abamwagala era abakwata amateeka ge.’ Ku mayinja ago kwaliko n’emisingi emirala emirungi ennyo gamba nga, “kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa,” “tobbanga,” era teweegombanga by’abalala.​—Kuv. 20:5, 6, 12, 15, 17.

Omununuzi Waffe Omutukuvu era ow’Ekitiibwa

17. Lwaki Abaisiraeri baalina okutwala erinnya lya Katonda nga ttukuvu?

17 “Yawa abantu be okununulwa; yalagira endagaano ye emirembe gyonna: erinnya lye ettukuvu, lya kitiibwa.” (Zab. 111:9) Ne ku mulundi guno, omuwandiisi wa zabbuli yandiba nga yali ayogera ku ngeri Yakuwa gye yakuumamu endagaano gye yakola ne Ibulayimu. Bwe kityo Yakuwa teyalekulira bantu be nga bali mu buddu e Misiri, ne bwe bali mu buwambe e Babulooni. Emirundi gyombi yabanunula. Ne bwe yandikomye ku kubakolera ebyo byokka, Abaisiraeri baali basaanidde okutwala erinnya lya Katonda nga ttukuvu.​—Soma Okuva 20:7; Abaruumi 2:23, 24.

18. Lwaki owulira nti okuyitibwa erinnya lya Katonda nkizo ya maanyi?

18 Bwe kityo bwe kiri ne ku Bakristaayo leero abanunuddwa okuva mu buddu bw’ekibi n’okufa. Tusaanidde okufuba okulaba nti bye tukola bituukana n’ebigambo bino ebiri mu ssaala ey’okulabirako: “Erinnya lyo litukuzibwe.” (Mat. 6:9) Okufumiitiriza ku linnya eryo ery’ekitiibwa ennyo kyandituleetedde okutya Katonda. Omuwandiisi wa Zabbuli 111 yali amanyi kye kitegeeza okutya Katonda, era yagamba nti: “Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera; balina okutegeera okulungi bonna abakola bwe batyo [abakuuma amateeka ge].”​—Zab. 111:10.

19. Kiki kye tujja okwekenneenya mu kitundu ekiddako?

19 Okutya Katonda kituyamba okukyawa ebintu ebibi. Era Kituyamba okukoppa engeri za Katonda ennungi ennyo ezoogerwako mu Zabbuli 112, ze tujja okwekenneenya mu kitundu ekiddako. Zabbuli eyo eraga kye tulina okukola okusobola okuba abamu ku bantu obukadde n’obukadde abanaatendereza Katonda emirembe gyonna. Kino kyennyini ky’agwanira. “Ettendo lye libeerera emirembe gyonna.”​—Zab. 111:10.

Ebibuuzo eby’Okufumiitirizaako

• Lwaki Yakuwa agwanidde okutenderezebwa abantu bonna?

• Engeri za Yakuwa ezeeyolekera mu mirimu gye ze ziruwa?

• Otwala otya enkizo ey’okuyitibwa erinnya lya Yakuwa?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]

Ensonga enkulu lwaki tukuŋŋaana bulijjo kwe kutendereza Yakuwa

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]

Amateeka ga Yakuwa gonna geesigamiziddwa ku misingi egyesigika era egy’olubeerera

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share