LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w10 12/15 lup. 30-31
  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Similar Material
  • ‘Yatambula ne Katonda ow’Amazima’
    Koppa Okukkiriza Kwabwe
  • Buli Muntu Asobola Okubaako ky’Ayiga Okuva mu Vidiyo Noah—He Walked With God
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
  • Nuuwa Yasiimibwa Katonda Kino Kitukwatako Kitya?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Yatambulira Wamu ne Katonda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
w10 12/15 lup. 30-31

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Mu Olubereberye 6:3 wagamba nti: “Omwoyo gwange teguuwakanenga na muntu emirembe n’emirembe, kubanga naye gwe mubiri: naye ennaku ze ziriba emyaka kikumi mu abiri.” Kyandiba nti wano Yakuwa yali alaga nti abantu tebalina kuwangaala myaka gisukka 120, era nti Nuuwa yamala emyaka egyo gyonna ng’abuulira ebikwata ku Mataba?

Eky’okuddamu kiri nti nedda.

Amataba nga tegannajja, abantu baawangaalanga emyaka mingi. Nuuwa yalina emyaka 600 Amataba we gajjira, era yawangaala emyaka 950. (Lub. 7:6; 9:29) Waliwo n’abantu abaazaalibwa oluvannyuma lw’Amataba abaawangaala emyaka egisukka mu 120. Alupakusaadi yafa nga wa myaka 438 ne Seera yafiira ku myaka 433. (Lub. 11:10-15) Kyokka ekiseera kya Musa we kyatuukira, abantu baali bawangaala emyaka 70 oba 80. (Zab. 90:10) N’olwekyo, Olubereberye 6:3 waali tewalaga nti abantu balina kuwangaala myaka 120 oba nti tebalina kugisussa.

Kati olwo mu lunyiriri olwo Katonda yali agamba Nuuwa atandike okulabula abantu nti yali agenda kuzikiriza ababi oluvannyuma lw’emyaka 120? Nedda. Emirundi mingi Katonda yayogeranga eri Nuuwa. Mu lunyiriri olwa 13 tusoma nti: ‘Katonda n’agamba Nuuwa nti Enkomerero ya buli ekirina omubiri etuuse mu maaso gange, kubanga ensi ejjudde eddalu.’ Mu myaka egyaddirira, Nuuwa yamaliriza omulimu ogwali ogw’amaanyi ogw’okuzimba eryato, era oluvannyuma ‘Yakuwa yagamba Nuuwa nti Yingira ggwe n’ennyumba yo yonna mu lyato.’ (Lub. 6:13; 7:1) Era waliwo n’emirundi emirala Yakuwa we yabuulira Nuuwa ku bintu ebitali bimu.​—Lub. 8:15; 9:1, 8, 17.

Kyokka, Olubereberye 6:3 wasoma mu ngeri ya njawuloko; tewogera ku Nuuwa, era tewalaga nti Katonda yali ayogera naye. Mu lunyiriri olwo Katonda yali alaga bulazi ekyo kye yali agenda okukola. (Geraageranya Olubereberye 8:21.) Mu byawandiikibwa bye tusoma ebikwata ku bintu ebyaliwo nga ne Adamu tannatondebwa, tusangamu ebigambo nga: “Katonda n’ayogera nti.” (Lub. 1:6, 9, 14, 20, 24) Kya lwatu nti Yakuwa yali talina muntu yenna ku nsi gwe yali ayogera naye, kubanga ensi teyaliiko muntu yenna.

N’olwekyo, tuyinza okugamba nti Olubereberye 6:3 walaga ekyo Katonda kye yali asazeewo okukola​—okuzikiriza enteekateeka y’ebintu embi eyaliwo ku nsi. Yakuwa yakiraga nti kino yandikikoze oluvannyuma lw’emyaka 120, wadde ng’ekyo Nuuwa yali tannakimanya. Naye lwaki yaleka ekiseera ekyo okuyitawo? Lwaki yagumiikiriza?

Omutume Peetero atuwa ensonga: “Katonda bwe yali ng’alindirira n’obugumiikiriza mu kiseera kya Nuuwa, eryato bwe lyali nga lizimbibwa, era mu lyato eryo abantu batono, kwe kugamba, abantu munaana, mwe baawonyezebwa amazzi.” (1 Peet. 3:20) Yee, Katonda we yakiragira nti yali wa kuzikiriza ababi oluvannyuma lw’emyaka 120, waaliwo ebintu ebyali birina okusooka okukolebwa. Oluvannyuma lw’emyaka nga 20, Nuuwa ne mukazi we baatandika okuzaala abaana. (Lub. 5:32; 7:6) Batabani baabwe baakula ne bawasa, bwe kityo amaka ga Nuuwa ne gabaamu “abantu munaana.” Oluvannyuma baatandika omulimu gw’okuzimba eryato, ogutaali mwangu bw’olowooza ku bunene bwalyo n’omuwendo gw’abantu abaali mu maka ga Nuuwa. Yee, Katonda okugumiikiriza okumala emyaka 120 kyasobozesa ebintu ebyo okukolebwa, era kyasobozesa abantu munaana abaali abeesigwa ‘okuwonyezebwa amazzi.’

Baibuli teraga mwaka gwennyini Yakuwa mwe yagambira Nuuwa nti yali agenda kuleeta Amataba. Naye okuva bwe kiri nti abaana be baali bazaaliddwa, nga bakuze, era nga bawasizza, kirabika waali wabulayo emyaka nga 40 oba 50 Amataba okujja. Mu kiseera kyo, Yakuwa yagamba Nuuwa nti: “Enkomerero ya buli ekirina omubiri etuuse mu maaso gange.” Era yagamba Nuuwa okuzimba eryato eddene, ye n’ab’omu maka ge baliyingiremu. (Lub. 6:13-18) Mu myaka egyaddirira, Nuuwa teyakoma ku kuteekawo kyakulabirako kirungi mu kukola ebikolwa eby’obutuukirivu naye era yakolanga ‘ng’omubuulizi w’obutuukirivu.’ Yabuulira abantu nti Katonda yali agenda kuzikiriza abantu abatatya Katonda abaaliwo mu kiseera ekyo. Nuuwa yali tamanyi mwaka ekyo mwe kyandikoleddwa, naye yali mukakafu nti ekiseera ekyo kyandituuse. Era nga naawe bw’omanyi, ekiseera ekyo kyatuuka.​—2 Peet. 2:5.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share