Akasanduuko K’ebibuuzo
◼ Ddi ekibinja ekirala eky’Okuyiga Ekitabo okw’Ekibiina lwe kyanditandikiddwawo?
Okutandikawo ekibinja ekippya kwandirowoozeddwako bwe kiba nga kyetaagisa okusobola okuba n’abantu abatasukka 15 mu buli kifo awayigirwa ekitabo, nga mw’otwalidde n’abakuŋŋaanira mu Kizimbe ky’Obwakabaka. Lwaki ekyo kyetaagisa?
Ebibinja eby’Okuyiga Ekitabo okw’Ekibiina bwe bibeeramu abantu abatono, akubiriza asobola bulungi okufaayo ku buli omu abeerawo. Okugatta ku ekyo, bonna babeera n’omukisa gw’okuddamu nga bali mu nteekateeka eyo ebasobozesa okwatula okukkiriza kwabwe. (Beb. 10:23; 13:15) Okubeera n’obubinja obutonotono mu bifo ebiweerako mu kitundu kyonna ekibiina kye kibuuliramu, kikifuula kyangu okubeerawo mu Kuyiga Ekitabo okw’Ekibiina era ne mu nkuŋŋaana z’okugenda mu nnimiro. Ebibiina ebyongedde ku bungi bw’ebifo awakuŋŋaanirwa bikisanze ng’omuwendo gw’ababeerawo ogw’awamu gweyongeddeko.
Wayinza okubaawo embeera ey’enjawulo eyeetaagisa okutandikawo ekibinja ekirala, wadde nga kiyinza okubaamu abantu abatono ennyo. Kino kiyinza okuba nga kisaana mu kitundu ekyesudde oba ng’abantu abakuŋŋaanira mu kifo ekimu bangi nnyo oba nga tebalina wa kutuula wamala. Bwe kiba kyetaagisa, wayinza okutandikibwawo ekibinja ekikuŋŋaana emisana olw’okuganyula bannamukadde, abakola ekiro, oba bannyinaffe abalina babbaabwe abatali bakkiriza.
Buli kibinja kyandibaddemu ababuulizi abawerako abanywevu mu by’omwoyo era abanyiikivu awamu n’omukubiriza era n’asoma obutundu abalina ebisaanyizo. Ab’oluganda balina okwewaayo okukola ku bwetaavu buno mu kibiina.
Abakadde bayinza okutumbula okukulaakulana kw’ekibiina nga bafaayo okulaba nti ebibinja awayigirwa ekitabo okw’ekibiina birimu abantu ab’ekigero ekisaanidde nga birabirirwa bulungi mu by’omwoyo era nga bakuŋŋaanira mu bifo ebisaanidde. Bwe kiba nga kiyinzika, ebibinja ebippya bisaanidde okutandikibwawo bonna basobole okuganyulwa mu bujjuvu mu nteekateeka eno ey’enjawulo ey’eby’omwoyo. Oyinza okuwaayo amaka go okuba ekifo eky’okuyigiramu ekitabo? Bangi abakoze bwe batyo bafunye emikisa mingi.