Weeyambisa Brocuwa Atwetaagisa Okutandika Okusomesa Abantu Baibuli?
1 Obadde okimanyi nti bw’okubaganya ebirowoozo n’omuntu ku Baibuli obutayosa ng’ogoberera enkola ennungi nga weeyambisa ekimu ku bitabo bye tugambibwa okukozesa, oba oyigiriza omuntu oyo Baibuli? Yee oba oyigiriza Baibuli k’obeere ng’obadde oyogera n’omuntu oyo ng’oyimiridde ku mulyango gwe oba ku ssimu. Lwaki mu Maayi ne Jjuuni tofuba okutandika okuyigiriza abantu Baibuli nga weeyambisa brocuwa Atwetaagisa?
2 Teekateeka Okusobola Okutuuka ku Buwanguzi: Bw’oba ogaba brocuwa Atwetaagisa, manya bulungi ky’oyagala okwogerako. Bw’oba oddayo, jjukira bye mwanyumyako n’omuntu oyo ku lukyala lwo olwasooka. Weebuuze: ‘Butundu ki mu brocuwa bwe nnyinza okuteekako essira okulaba nti ntandika okuyigiriza omuntu ono Baibuli?’ Bw’oba obuulira nnyumba ku nnyumba, lowooza ku by’okwogerako ebinaasikiriza omutiini, omuntu omukulu, omusajja, oba omukazi. Weekenneenye emitwe egiri mu brocuwa, era olondeyo gumu oguyinza okumunyumira. Bw’omala okusalawo enkola gy’onookozesa, gyegezeemu enfunda n’enfunda. Eyo y’emu ku ngeri y’okutuuka ku buwanguzi.
3 Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjanwali 2002 mu lupapula olw’omunda, twaweebwa ‘ebintu munaana Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Brocuwa Atwetaagisa.” Akasanduuko akalina omutwe “Ennyanjula Etuuka Obutereevu ku Nsonga,” kalaga engeri y’okukozesaamu brocuwa okutandika okuyigiriza abantu Baibuli. Oyinza okweyambisa engeri esooka bw’oti:
3◼ “Obadde omanyi nti mu ddakiika ntono nnyo osobola okufuna eky’okuddamu mu kibuuzo kya Baibuli ekikulu? Ng’ekyokulabirako, lwaki waliwo amadiini mangi ageeyita Amakristaayo? Ekyo wali okyebuuzizzaako?” Omuntu bw’amala okubaako ne ky’addamu, bikkula ku ssomo 13 era okubaganye naye ebirowoozo ku butundu obubiri obusooka. Bw’aba alina obudde, soma era okubaganye naye ebirowoozo ku kyawandiikibwa kimu oba bibiri. Bw’omala, soma ekibuuzo ekisembayo waggulu ku lupapula, ogambe nti: “Ebiddako mu ssomo lino biraga ensonga ttaano ezaawulawo eddiini ey’amazima. Nja kusanyuka okudda tuzeetegereze.”
4 Ba Munyiikivu: Weeyambise buli kakisa konna okulaga abantu engeri gy’oyinza okubayigirizaamu Baibuli nga weeyambisa brocuwa Atwetaagisa. Saba Yakuwa emikisa gye. (Mat. 21:22) Bw’onoonyiikira, oyinza okufuna essanyu ery’okuyamba omuntu oyo okubaako ne kyakolawo ng’amaze okuwulira amawulire amalungi.