Akasanduuko K’ebibuuzo
◼ Singa ekibiina kisabibwa okuteekateeka ebikwata ku mukolo ogw’okuziika, ebibuuzo bino wammanga biyinza okujjawo:
Ani asaanidde okuwa okwogera okukwata ku kuziika? Ab’omu maka g’omuntu afudde be balina okusalawo. Bayinza okulonda ow’oluganda yenna ali mu mbeera ennungi ey’eby’omwoyo. Singa akakiiko k’abakadde kasabibwa okulonda omwogezi, basaanidde okulonda omukadde asobola okuwa okwogera ng’agoberera ekiwandiiko kya Sosayate ekikwata ku mboozi eyo. Wadde tatendereza mufu, kyandibadde kirungi okwogera ku ngeri ennungi z’abadde alina.
Ekizimbe ky’Obwakabaka kiyinza okukozesebwa? Kiyinza okukozesebwa singa akakiiko k’abakadde kakkiriza, era singa tekitaataaganya ntegeka ya nkuŋŋaana. Ekizimbe ky’Obwakabaka kiyinza okukozesebwa singa omufu abadde amanyiddwa ng’omuntu ow’empisa ennungi era ng’abadde wa luganda oba mwana wa wa luganda. Bwe kiba nti omufu abadde amanyiddwa mu kitundu ng’omuntu ow’empisa embi, oba singa wabaawo ensonga endala eziyinza okuleetera ekibiina okwogerwako obubi, abakadde bayinza obutakkiriza Ekizimbe ky’Obwakabaka okukozesebwa.—Laba akatabo Our Ministry, empapula 62-3.
Okutwalira awamu, Ebizimbe by’Obwakabaka tebikolerwamu mikolo gikwata ku kuziika bantu abatali bakkiriza. Eky’enjawulo kiyinza okukolebwa singa ab’eŋŋanda z’omuntu oyo afudde baba babuulizi ababatize, oba singa abadde amanyiddwa bangi mu kibiina okuba omuntu ayagala amazima era ng’alina empisa ennungi mu kitundu, era nga tewajja kubaawo bulombolombo bwa nsi obugattibwa ku mukolo ogwo.
Nga tebannaba kukkiriza Kizimbe kya Bwakabaka kukozesebwa, abakadde bajja kusooka beekenneenye obanga kiba kisuubirwa essanduuko omuli omufu okubeerawo ng’okwogera okukwata ku kuziika kuweebwa. Bwe kiba bwe kityo, bajja kukkiriza ereetebwe mu Kizimbe ky’Obwakabaka.
Ate gyo emikolo egy’okuziika abantu b’ensi? Bwe kiba nti omufu abadde amanyiddwa mu kitundu ng’omuntu ow’empisa ennungi, ow’oluganda ayinza okuwa okwogera okubudaabuda okwesigamiziddwa ku Baibuli okumpi n’entaana. Ekibiina tekijja kukkiriza kukola ku mukolo gwa kuziika singa omufu abadde amanyiddwa okuba n’empisa ez’obugwenyufu, omumenyi w’amateeka oba enneeyisa endala embi ennyo ezikontana n’emisingi gya Baibuli. Ow’oluganda tasobola kwegatta wamu na mukulu wa ddiini okukubiriza omukolo gw’okuziika oba okwenyigira mu mukolo gw’okuziika ogutegekeddwa mu kkanisa ya Babulooni Ekinene.
Kiba kitya singa omufu yali agobeddwa mu kibiina? Okutwalira awamu, ekibiina tekyandyenyigidde mu mukolo ogwo. Era n’Ekizimbe ky’Obwakabaka tekyandikozeseddwa. Bwe kiba nti omuntu oyo abadde alaga ebikolwa eby’okwenenya era ng’ayagala okukomezebwawo mu kibiina, ow’oluganda ayinza okuwa okwogera okwesigamiziddwa ku Baibuli okumpi n’entaana, awe obujulirwa abo abatali bakkiriza era n’okubudaabuda ab’eŋŋanda. Kyokka, nga tannaba kusalawo kukola ekyo, kyandibadde kya magezi ow’oluganda oyo okusooka okwebuuza ku kakiiko k’abakadde era n’okulowooza ku ebyo bye baba bamugambye. Bwe kyeyoleka nti tekyandibadde kya magezi ow’oluganda oyo okwenyigiramu, ow’oluganda alina oluganda ku muntu oyo afudde ayinza okuwa okwogera okubudaabuda ab’eŋŋanda.
Obulagirizi obulala obukwata ku nsonga eno buyinza okusangibwa mu Watchtower aka Okitobba 15, 1990, empapula 30-1; aka Ssebutemba 15, 1981, olupapula 31; aka Maaki 15, 1980, empapula 5-7; aka Jjuuni 1, 1978, empapula 5-8; Jjuuni 1, 1977, empapula 347-8; aka Maaki 15, 1970, empapula 191-2; ne Awake! aka Ssebutemba 8, 1990, empapula 22-3 n’aka Maaki 22, 1977, empapula 12-15.