Akasanduuko K’ebibuuzo
◼ Twandyambadde era ne twekolako tutya nga tugenda okukyalira Beseri?
Bwe tugenda ku Beseri okulambula oba okukyalira abo abaweerezaayo, “ennyambala yaffe, engeri gye twekolako n’enneeyisa yaffe birina okufaanana n’ekyo ekitusuubirwamu nga tugenze mu nkuŋŋaana mu Kizimbe ky’Obwakabaka.” (om 131) Kyokka, kirabiddwa nti baganda baffe abamu ne bannyinaffe bwe bagenda okukyalira ofiisi za Sosayate, bamala geeyambalira. Ekyo si kye kyandikoleddwa mu bifo ebyo. Endabika yaffe erina okuba ng’esaanira era nga yeeyo esuubirwa mu bantu abaweereza Yakuwa Katonda.—1 Tim. 2:9, 10.
Kino kikulu nnyo naddala nga tukyalira amaka ga Beseri kubanga ebifo ebyo bitunuulirwa nnyo abantu abatali Bajulirwa. Kye balaba kirina ekifaananyi kye kibawa ku bantu ba Katonda n’ekibiina kye. Kiba kirungi okwogerako n’abayizi ba Baibuli n’abalala abaagala okukyalako mu bifo bino okubajjukiza nga bwe kiri ekikulu ennyo okwambala n’okwekolako mu ngeri esaanira. Amaka ga Beseri gajja kusiima nnyo bw’onookola bw’otyo.
Ng’abaweereza Abakristaayo, tulina okwegendereza endabika yaffe ereme kwesittaza muntu yenna. (2 Kol. 6:3, 4) Okuyitira mu nnyambala yaffe ennungi, ka ‘tuyonjenga okuyigiriza kw’Omulokozi waffe Katonda mu byonna.’—Tito 2:10.