Engeri Abalabirizi Abakubiriza Okusoma Ekitabo Gye Balagamu Okufaayo
1 Ekigendererwa ky’olukuŋŋaana lw’Okusoma Ekitabo eky’Ekibiina “kwe kusobozesa buli omu okufiibwako asobole okukula mu by’omwoyo. . . . Kano kabonero akalaga ekisa Yakuwa ky’alina era n’engeri gy’afaayo ku bantu be.” (om lup. 75; Is. 40:11) Omulabirizi akubiriza okusoma ekitabo alina eky’amaanyi ky’akolawo mu kulaga okufaayo ng’okwo.
2 Mu Lukuŋŋaana lw’Okusoma Ekitabo: Okuva olukuŋŋaana lw’okusoma ekitabo bwe lubaamu abantu abatono, omulabirizi alukubiriza asobola okumanya obulungi abantu abali mu kabinja ke. (Nge. 27:23) Buli wiiki wabaawo emikisa gy’okunyumyamu ng’olukuŋŋaana terunnatandika oba nga luwedde. Omwezi we guggwerako, omulabirizi akubiriza okusoma ekitabo asobola okunyumyamu kumpi na buli muntu ali mu kabinja ke. Kino kiyamba ab’oluganda abo okumutuukirira bwe baba nga bali mu bizibu oba nga beetaaga okuzzibwamu amaanyi.—Is. 32:2.
3 Omulabirizi akubiriza okusoma ekitabo agezaako okukubiriza bonna abali mu kabinja ke okwenyigira mu lukuŋŋaana olwo. Engeri emu gy’akolamu kino, kwe kukubiriza olukuŋŋaana mu ngeri ey’ekisa era ey’eggonjebwa. (1 Bas. 2:7, 8) Agezaako okulaba nti bonna nga mw’otwalidde n’abaana balwenyigiramu nga babaako bye baddamu. Abamu bwe baba nga batya okuddamu, ayinza okubayamba nga bali bokka era ng’ekyabulayo obudde ng’abawa ekyawandiikibwa kye banaasoma mu lukuŋŋaana oba eky’okuddamu mu katundu akamu. Oba ayinza okubalaga engeri gye bayinza okuddamu mu bigambo byabwe ku bwabwe.
4 Omubeezi w’omulabirizi akubiriza okusoma ekitabo bw’aba nga muweereza, omulabirizi amukolera enteekateeka okukubiriza okusoma ekitabo omulundi gumu buli luvannyuma lwa myezi ebiri. Kino kisobozesa omulabirizi okwekkaanya omubeezi we era n’amuwa ebirowoozo ebiyinza okumuyamba mu ngeri y’okukubirizaamu olukuŋŋaana. Eno nga nteekateeka nnungi nnyo ey’okuyamba ab’oluganda okulongoosa mu ngeri gye bayigirizaamu!—Tit. 1:9.
5 Mu Buweereza bw’Ennimiro: Obumu ku buvunaanyizibwa obukulu obw’omulabirizi akubiriza okusoma ekitabo, kwe kutwala obukulembeze mu kubuulira. (Kubal. 27:16, 17) Akola entegeka ez’okubuulira mu kabinja ke era n’afuba okuyamba bonna okufuna essanyu mu buweereza bwabwe. (Bef. 4:11, 12) Okusobola okutuukiriza ekyo, omulabirizi akifuula kiruubirirwa kye okubuulirako na buli omu ali mu kabinja ke. Era akolaganira wamu n’omulabirizi w’obuweereza ne bakola enteekateeka y’okuyamba abo abeetaaga okulongoosaamu mu ngeri ezimu ez’obuweereza bwabwe okufuna obuyambi okuva eri abaweereza abalina obumanyirivu obusingawo.
6 Ng’Omusumba Omwagazi: Omulabirizi akubiriza okusoma ekitabo afaayo ku abo abatasobola kwenyigira nnyo mu mulimu gw’okubuulira olw’embeera zaabwe. Alina okukakasa nti abo abateesobola bulungi olw’obukadde, obulwadde obw’amaanyi oba ebisago bamanya entegeka ebakkiriza okuwaayo lipoota y’obuweereza bw’ennimiro wadde nga ya ddakiika 15 zokka bwe baba tebasobola kuwaayo ssaawa nnamba mu mwezi ogwo. (Akakiiko k’Ekibiina ak’Obuweereza ke kalina okusalawo ani agwanira okuba mu nteekateeka eno.) Era afaayo ne ku abo abali mu kabinja ke abatakyabuulira, ng’afuba okubayamba okuddamu okubuulira awamu n’ekibiina.—Luk. 15:4-7.
7 Nga tusiima nnyo okufaayo kw’abalabirizi abakubiriza okusoma ekitabo! Okufaayo kwabwe kutuyamba ‘okutuuka mu bumu obw’okukkiriza, n’okutuuka mu kigera eky’obukulu obw’okutuukirira kwa Kristo.’—Bef. 4:13.