Okuyamba Abayizi ba Baibuli Okukulaakulana Ekitundu 4: Okuyigiriza Abayizi Okutegeka
1 Omuyizi ategeka nga bukyali, n’asaza ku by’okuddamu era n’alowooza ne ku ngeri gy’ayinza okuddamu mu bigambo bye, akulaakulana mangu nnyo mu by’omwoyo. Bw’otandika okuyiga n’omuntu, musome naye essomo osobole okumulaga engeri y’okukutegekamu. Kiba kya muganyulo okutegekera awamu n’abayizi abamu essuula yonna oba essomo lyonna.
2 Okusaza ku by’Okuddamu n’Okubaako by’Awandiika: Nnyonnyola omuyizi engeri gy’ayinza okufunamu eby’okuddamu mu bibuuzo ebiba biweereddwa. Mulage ekitabo kyo mwe wasaza ku bigambo byokka ebiggyayo ensonga enkulu. Nga mutegeka, ayinza okukukkopa ng’asaza ku ebyo byokka ebinaamuyamba okujjukira eby’okuddamu. (Luk. 6:40) Oluvannyuma musabe addemu mu bigambo bye. Kino kijja kukuyamba okumanya oba nga ategeera bulungi bye musoma.
3 Omuyizi bw’aba ategeka kiba kikulu nnyo ne yeekenneenya ebyawandiikibwa ebitasimbuliziddwa bulambalamba okuva mu Baibuli. (Bik. 17:11) Muyambe okukitegeera nti buli kyawandiikibwa ekiweereddwa kirina ensonga gye kiwagira mu katundu. Mulage engeri y’okubaako ne by’awandiika ebitonotono ku mabbali g’empapula mu katabo ke. Kiggumize nti by’asoma byesigamiziddwa ku Baibuli. Mukubirize okukozesa ebyawandiikibwa ebiweereddwa ng’addamu ebibuuzo.
4 Okuyitaayitamu n’Okwejjukanya: Ng’omuyizi tannatandika kutegeka, kijja kumuganyula singa asooka kuyitaayita mu by’agenda okusoma. Mutegeeze nti asobola okukikola nga yeekenneenya omutwe omunene, emitwe emitono, era n’ebifaananyi. Munnyonnyole nti nga tannamaliriza kutegeka, kiba kirungi ne yejjukanya ensonga enkulu eziri mu ssomo, oboolyawo ng’akozesa akasanduuko akalimu ebibuuzo eby’okwejjukanya bwe kaba kaweereddwa. Okwejjukanya ng’okwo kujja kumuyamba okujjukira by’asomye.
5 Okuyigiriza omuyizi okutegeka obulungi kijja kumuyamba okuddamu ebizimba mu nkuŋŋaana z’ekibiina. Era kijja kumuyamba okuba n’entegeka ey’okwesomesanga, eneemuyamba ne mu biseera eby’omu maaso.