Enteekateeka y’Amaka—Okwekenneenya Ekyawandiikibwa eky’Olunaku
1 Abazadde abalina okwagala bafuba nnyo okufunira abaana baabwe emmere ennungi buli lunaku. Kyokka, ekisingawo n’obukulu, kwe kubawa emmere ey’eby’omwoyo eva mu Kigambo kya Katonda. (Mat. 4:4) Engeri emu gy’oyinza okuyambamu abaana bo okwagala ebintu eby’omwoyo basobole ‘okutuuka ku bulokozi’ kwe kuwaayo ebiseera buli lunaku okwekenneenya nabo ekyawandiikibwa eky’olunaku n’ebigambo ebikinnyonnyola. (1 Peet. 2:2) Kino kiyinza kubaawo ddi mu nteekateeka yammwe ey’amaka?
2 Nga Mulya: Olunaku bwe mulutandika nga mukubaganya ebirowoozo ku kyawandiikibwa eky’olunaku, kiyinza okuyamba ab’omu maka okulowooza ku Yakuwa olunaku olwo lwonna. (Zab. 16:8) Maama omu yasalawo okusoma ne mutabani we ekyawandiikibwa eky’olunaku n’ebigambo ebikinnyonnyola nga balya eky’enkya era n’okusabira awamu naye nga tannagenda ku ssomero. Kino kyayamba mutabani we obutatwalirizibwa bikolwa ebyoleka mwoyo gwa ggwanga, okwewala empisa ez’obugwenyufu n’okufuna obuvumu okubuulira bayizi banne n’abasomesa. Wadde nga ye yali Omujulirwa yekka mu ssomero eryo, yawulira nga tali yekka.
3 Bwe kiba nga tekisoboka kukubaganya birowoozo ku kyawandiikibwa ku makya, muyinza okukikubaganyaako ebirowoozo ng’amaka mu biseera ebirala, gamba nga mulya ekyeggulo. Abamu boogera ne ku bintu ebyabaddewo nga bali mu buweereza bw’ennimiro era ne ku ebyo ebyabanyumidde nga basoma Baibuli. Bangi bajjukira essanyu lye baafunanga mu biseera ng’ebyo nga baliira wamu ng’amaka.
4 Ekiro: Amaka agamu, ganguyirwa okwekenneenya ekyawandiikibwa eky’olunaku nga bagenda okwebaka. Kino era kiyinza okuba ekiseera ekirungi okusabira awamu. Abaana bo bwe bakuwulira ng’oyogera ku Yakuwa era ng’omusaba buli lunaku, afuuka wa ddala gye bali.
5 Yakuwa ka yeeyongere okubawa emikisa nga mufuba okuyigiriza abaana bammwe amazima nga mukozesa bulungi akatabo Okwekenneenya Ekyawandiikibwa Buli Lunaku.