Yamba Abaana Bo Okukulaakulana mu Buweereza
1 Abazadde Abakristaayo balina obuvunaanyizibwa bw’amaanyi obw’okutendeka abaana baabwe okubuulira okuviira ddala nga bakyali bato. Kino bayinza okukikola mu ngeri eziwerako. Abaana abamu basobola okukwata ekyawandiikibwa mu mutwe ne bwe baba tebannaba kuyiga kusoma. Kino kirina kinene kye kiyinza okukola ku bawuliriza. Abaana bwe bagenda bakula, basobola okukola ekisingawo mu buweereza. Abazadde, muyinza mutya okuyamba abaana bammwe okwenyigira mu kubuulira? Oboolyawo amagezi gano wammanga gayinza okubayamba.
2 Oluvannyuma lw’okubuuza nnyinimu, oyinza okumugamba:
2◼ “Mutabani wange [yogera erinnya lye], alina ekyawandiikibwa ekirungi ennyo kye yandyagadde owulire.” Omwana wo ayinza okugamba: “Ekyawandiikibwa kino ekiri mu Zabbuli kyanjigiriza erinnya lya Katonda. [Omwana asoma Zabbuli 83:18 oba akyogera okuva mu mutwe.] Magazini zino ziraga ekyo Yakuwa Katonda ky’ajja okutukolera. Nzikulekere?” Oyinza okumaliriza ng’onnyonnyola engeri omulimu gwaffe ogukolebwa mu nsi yonna gye guwagirwamu mu by’ensimbi.
3 Oba oyinza okutandika ng’ogamba bw’oti:
3◼ “Osiibye otyano ssebo. Ntendeka muwala wange, [yogera erinnya lye], okufaayo ku bantu b’omu kitundu. Yandyagadde okukubuulirako mu bufunze ku bubaka obuva mu Baibuli.” Omuwala ayinza okugamba: “Engeri emu gye nyambamu abantu kwe kubabuulira ku ssuubi ery’omu biseera eby’omu maaso eryogerwako mu Baibuli. [Omwana asoma Okubikkulirwa 21:4 oba akyogera okuva mu mutwe.] Magazini zino zinnyonnyola Obwakabaka bwa Katonda kye bujja okutukolera. Ndowooza ojja kunyumirwa nnyo okuzisoma.”
4 Bulijjo okukozesa ennyanjula ennyangu kiyamba abaana okwanguyirwa okubuulira obubaka bw’Obwakabaka. Bwe mwegezaamu ng’essira mulissa ku kwogera mu ddoboozi eriwulikika obulungi, kisobozesa abaana okwogera nga bali mu mbeera ez’enjawulo. Okweteekateeka nga bukyali era n’okubasiima mu bwesimbu kijja kubayamba okubuulira obulungi.
5 Nga bayambibwa mu ngeri eyo, abato bangi bafuuse ababuulizi abatali babatize. Nga kisanyusa nnyo bwe tulaba abaana baffe nga bakulaakulana mu buweereza obw’Ekikristaayo!—Zab. 148:12, 13.