Tuyinza Tutya Okuyamba?
1 Buli lwe bawulira nti waguddewo akatyabaga, Abajulirwa ba Yakuwa batera okubuuza ekibuuzo ekyo waggulu. Nga Ebikolwa by’Abatume 11:27-30 bwe walaga, Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka badduukirira ab’oluganda abaali mu Buyudaaya olw’enjala eyali eguddeyo.
2 Mu kiseera kino, amateeka agafuga ekibiina kyaffe gakkiriza nti ezimu ku ssente eziweebwayo zikozesebwe mu kudduukirira abo ababonaabona olw’okutuukibwako obutyabaga bw’omu butonde oba obwo obuleetebwa abantu, era n’okubadduukirira nga balina ebizibu eby’engeri endala.
3 Ng’ekyokulabirako, omwaka oguwedde ab’oluganda baawaayo obuyambi okudduukirira abo abaakosebwa musisi ow’omu nnyanja (tsunami) mu bukiika ddyo bwa Asiya. Ssente ez’aweebwayo eri ekibiina okudduukirira abali mu buzibu zaasiimibwa nnyo. Kyokka, mu nsi ezimu, singa omuntu awaayo ssente okudduukirira abo abatuukiddwako akatyabaga era n’alaga nti zirina kukozesebwa ku kizibu ekyo kyokka ekiba kiguddewo, kiba kyetaagisa okukozesa ssente ezo nga bw’aba alagidde ka kibe nti ekizibu kya baganda baffe kyakoleddwako oba nedda.
4 N’olwekyo, kiba kirungi omuntu ayagala okuwaayo obuyambi okudduukirira abo ababonaabona oba abo abatuukiddwako akatyabaga, okubuwaayo eri omulimu ogw’ensi yonna. Ssente ezo eziba ziweereddwayo zikozesebwa okudduukirira abo ababa abatuukiddwako akatyabaga awamu n’okukola ku bwetaavu bw’ab’oluganda obw’eby’omwoyo. Naye, olw’ensonga ezimu, singa omuntu awaayo ssente ng’azaawudde ku ezo eziweebwaayo eri omulimu ogw’ensi yonna, nazo zijja kukkirizibwa era zikozesebwe mu kifo kyonna awanaaba obwetaavu obw’okudduukirira abali mu buzibu. Kyokka, kyandibadde kirungi okuwaayo ssente ezo nga teziriiko kakwakkulizo konna.
5 Bwe tuwaayo ssente eri omulimu gw’ensi yonna, kisobozesa ssente ezo okukozesebwa ku bintu byonna ebikwatagana n’omulimu gw’Obwakabaka mu kifo ky’okuzitereka obuteresi zikozesebwa nga wagguddewo akatyabaga mu biseera eby’omu maaso. Kino kituukagana n’ebyo ebiri mu Abaefeso 4:16, awatukubiriza okukolera awamu nga tuwaayo ekyo ekyetaagisa “omubiri gweyongera okukula olw’okwezimba mu kwagalana.”