Faayo ku Bantu—Nga by’Oyogera Obituukanya n’Embeera Zaabwe
1 Omutume Pawulo yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi ng’atuukanya by’ayogera n’embeera z’abo abamuwuliriza era n’endowooza yaabwe. (1 Kol. 9:19-23) Naffe twandifubye okukola ekintu kye kimu. Bwe tuteekateeka obulungi, tusobola okutuukanya ennyanjula eziri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka n’embeera z’abantu abali mu kitundu kyaffe. Bwe tutuuka mu maka g’omuntu, tuyinza okulaba ebintu bye tuyinza okukozesa mu nnyanjula yaffe. Kyokka, waliwo engeri endala gye tuyinza okukozesa okusobola okutuukanya bye twogera n’embeera z’abantu.
2 Zimbira ku Ebyo Nnyinimu by’Ayogera: Emirundi egisinga bwe tuba twanjula amawulire amalungi, tubuuza ekibuuzo ne tusaba nnyinimu abeeko ky’addamu. By’addamu obitwala otya? Omwebaza bwebaza ne weeyongerayo n’ebyo bye wategese okwogerako? Oba by’oyogera biraga nti nnyinimu by’azzeemu obitutte nga bikulu? Singa by’oyogera obizimbira ku ekyo nnyinimu ky’aba azzeemu, ojja kusobola okumubuuza ebibuuzo ebirala ebijja okukusobozesa okutegeera endowooza ye. (Nge. 20:5) Bw’okola bw’otyo, essira ojja kusobola okuliteeka ku bubaka bw’Obwakabaka obukwatira ddala ku muntu oyo.
3 Kino kiba kitwetaagisa okuba abeetegefu okukyusa mu ebyo bye twabadde tutegese okwogerako. Mu nnyanjula yaffe tuyinza okwogera ku bizibu ebyayogeddwako mu mawulire, ate ye nnyinimu n’ayogera ku ekyo ekiri mu kitundu kye oba ekimukwatako ye kennyini. Olw’okuba twagala okutuukanya bye twogera n’ebyetaago bya nnyinimu, tujja kwogera ku ebyo ebimukwatako.—Baf. 2:4.
4 Lekawo Omusingi kwe Munaatandikira: Nnyinimu bw’abuuza ekibuuzo, kiyinza okuba ekirungi okukiddamu ku mulundi omulala nga tumaze okufuna ebirala ebinaatuyamba okukiddamu obulungi. Naye tuyinza okumulekera akatabo akannyonnyola ensonga eyo. Bwe tukola bwe tutyo, kiba kiraga nti twagala okuyamba abalala okumanya Yakuwa.—2 Kol. 2:17.