LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 4/08 lup. 1
  • Beera Omubuulizi Akulaakulana

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Beera Omubuulizi Akulaakulana
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
  • Similar Material
  • Engeri y’Okutendekamu Abapya Okubuulira
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
  • Otuukiriza Obuweereza Bwo mu Bujjuvu?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Teekawo Ebiruubirirwa Eby’Eby’Omwoyo
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
  • Weeyongere Okubuulira n’Obunyiikivu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
km 4/08 lup. 1

Beera Omubuulizi Akulaakulana

1 Kitaffe ow’omu ggulu asanyuka nnyo bw’alaba abaweereza be nga bakulaakulana mu by’omwoyo. Kino kizingiramu okukulaakulana ng’omubuulizi w’amawulire amalungi. Pawulo yakubiriza omulabirizi Timoseewo okweyongera okusoma n’okuyigiriza, ‘okukulaakulana kwe kusobole okulabika eri bonna.’ (1 Tim. 4:13-15, NW) Ffenna tusaanidde okufuba okulongoosa mu buweereza bwaffe, ne bwe kiba nti tuli babuulizi abalina obumanyirivu.

2 Weeteerewo Ebiruubirirwa: Okusobola okukulaakulana, kitwetaagisa okussaawo ebiruubirirwa. Ebimu ku biruubirirwa bye tuyinza okweteerawo bye biruwa? Kiyinza okutwetaagisa okweyongera okufuba okukozesa obulungi ekitala kyaffe eky’omwoyo, Baibuli. (Bef. 6:17) Oboolyawo waliwo engeri emu ey’obuweereza gye twetaaga okulongoosaamu, gamba ng’okubuulira ku nguudo, ku ssimu, oba mu bifo awakolerwa bizineesi. Oboolyawo tuyinza okufuba okulongoosa mu ngeri gye tuddiŋŋanamu abantu. Ekiruubirirwa ekirala ekirungi ennyo kye tuyinza okweteerawo kwe kufuba okufuna abayizi ba Baibuli era n’okulongoosa mu ngeri gye tubayigirizaamu.

3 Ebiyinza Okutuyamba: Enkuŋŋaana z’ekibiina, naddala Essomero ly’Omulimu gwa Katonda n’Olukuŋŋaana lw’Obuweereza, zitegekeddwa okutuyamba okulongoosa mu buweereza bwaffe. Gye tukoma okuteekateeka enkuŋŋaana zino, okuzeenyigiramu, n’okukolera ku magezi agatuweebwa, gye tukoma okuziganyulwamu.​—2 Kol. 9:6.

3 Ate era, okusobola okukulaakulana, kitwetaagisa okuyambagana. (Nge. 27:17) Bwe tuwuliriza obulungi ng’abo be tukola nabo mu buweereza babuulira, kijja kutuyamba okulongoosa mu ngeri gye tubuuliramu. Okugatta ku ekyo, omulabirizi akubiriza olukuŋŋaana lw’okusoma ekitabo asobola okutukolera enteekateeka ne tufuna obuyambi. Nga mukisa gwa maanyi okuba ne bapayoniya oba ababuulizi abalina obumanyirivu abasobola okutuyamba okulongoosa mu buweereza bwaffe era n’okubufunamu essanyu! Waliwo omubuulizi omupya mu kibinja gye tusomera ekitabo? Oboolyawo tuyinza okumusaba okukolako naffe mu buweereza.

3 Omulimu ogusingayo obukulu ogukolebwa leero gwe gw’okubuulira. Nga tuwa Yakuwa “ssaddaaka ey’ettendo,” twagala okumuwa ekyo ekisingayo obulungi. (Beb. 13:15) Bwe tufuba okuba ababuulizi abakulaakulana, tujja kuba abakozi ‘abatakwatibwa nsonyi, abakozesa obulungi ekigambo eky’amazima.’​—2 Tim. 2:15.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share