Okubuulira Kutusobozesa Okusigala nga Tuli Banywevu mu by’Omwoyo
1. Miganyulo ki gye tufuna mu kubuulira?
1 Okunyiikirira omulimu gw’okubuulira kitusobozesa okuba abanywevu mu by’omwoyo era kyongera ku ssanyu lyaffe. Kya lwatu, ekisinga okutuleetera okwenyigira mu buweereza kwe kusanyusa Yakuwa. Kyokka, bwe tugondera ekiragiro ‘eky’okubuulira ekigambo,’ tufuna emikisa gya Yakuwa era n’emiganyulo emirala mingi. (2 Tim. 4:2; Is. 48:17, 18) Naye okubuulira kuyinza kutya okutunyweza mu by’omwoyo era n’okutuwa essanyu?
2. Obuweereza butunyweza butya?
2 Tunywezebwa era Tufuna Emikisa: Okubuulira kutusobozesa okussa ebirowoozo byaffe ku mikisa gy’Obwakabaka mu kifo ky’okubissa ku bizibu ebiriwo leero. (2 Kol. 4:18) Okunnyonnyola abalala enjigiriza za Baibuli kinyweza okukkiriza kwaffe mu bisuubizo bya Yakuwa era kitusobozesa okweyongera okusiima amazima. (Is. 65:13, 14) Bwe tuba tuyamba abalala okukula mu by’omwoyo baleme ‘okuba ab’ensi,’ naffe tuba tweyongera okuba abamalirivu obutaba ba nsi.—Yok. 17:14, 16; Bar. 12:2.
3. Obuweereza bwaffe butuyamba butya okukulaakulanya engeri ez’Ekikristaayo?
3 Okwenyigira mu buweereza kituyamba okukulaakulanya engeri ez’Ekikristaayo. Ng’ekyokulabirako, okufuba ‘okufuuka byonna eri abantu aba buli ngeri’ kituyamba okweyongera okuba abawombeefu. (1 Kol. 9:19-23) Bwe tuba twogera n’abo ‘ababonaabona era abasaasaanye ng’endiga ezitalina musumba,’ kituyamba okuyiga okulumirirwa abalala era n’okubalaga obusaasizi. (Mat. 9:36) Tuyiga okuba abagumiikiriza bwe tweyongera okubuulira wadde ng’abantu tebeefiirayo oba nga batuziyiza. Tufuna essanyu lingi bwe twewaayo okuyamba abalala.—Bik. 20:35.
4. Obuweereza bwo obutwala otya?
4 Nga nkizo ya maanyi okwenyigira mu buweereza obuweesa ettendo Oyo yekka agwanidde okusinzibwa! Obuweereza butunyweza mu by’omwoyo era buleeta emikisa mingi eri abo abeemalira ku ‘kuwa obujulirwa mu bujjuvu ku mawulire amalungi.’—Bik. 20:24, NW.