Obuweereza Bwaffe Bwoleka Okwagala kwe Tulina eri Katonda
1. Okwagala Yesu kwe yalina eri Katonda kwamukubiriza kukola ki?
1 Okwagala kwakubiriza Yesu okutuukiriza obuweereza bwe. Buli kimu Yesu kye yakola mu buweereza bwe kyalaga okwagala kw’alina eri Yakuwa. Yesu yagamba nti: “Nkwata ebiragiro Kitange bye yampa ensi esobole okumanya nti njagala Kitange.” (Yok. 14:31) Ng’abagoberezi ba Yesu abatambulira mu bigere bye, naffe tulina enkizo ey’okwoleka okwagala okwa maanyi kwe tulina eri Katonda nga tuli mu buweereza bwaffe.—Mat. 22:37; Bef. 5:1, 2.
2. Okwagala kwe tulina eri Yakuwa kukwata kutya ku buweereza bwaffe?
2 “Erinnya Lyo Litukuzibwe”: Bwe tufuba okukozesa buli kakisa okubuulira abalala ebikwata ku Yakuwa n’Obwakabaka bwe, tuba tulaga nti tumwagala, era mu ngeri eyo tuba tutukuza erinnya lye. (Zab. 83:18; Ez. 36:23; Mat. 6:9) Okufaananako obuweereza bwa Yesu, obuweereza bwaffe bweyongera okukiraga nti twagala nnyo erinnya lya Yakuwa litukuzibwe era ne by’ayagala bikolebwe.—Mat. 26:39.
3. Mu ngeri ki okwagala kwe tulina eri Yakuwa gye kutusobozesa okuvvuunuka ebizibu?
3 Okwagala Kutusobozesa Okuvvuunuka Ebizibu: Okwagala kwe tulina eri Yakuwa kutusobozesa okwaŋŋanga ebizibu byonna. (1 Kol. 13:4, 7) Yesu yayolekagana n’ebizibu bingi mu bulamu ebyandimulemesezza okutuukiriza obuweereza bwe. Kyokka, olw’okuba yali ayagala nnyo Yakuwa n’okukola by’ayagala, kyamusobozesa okuvvuunuka ebizibu byonna bye yayolekagana nabyo. (Mak. 3:21; 1 Peet. 2:18-23) Naffe okwagala kwe tulina eri Katonda kusobola okutuyamba okuvvuunuka ebizibu bye twolekagana nabyo. Bwe tugoberera ekyokulabirako kya Kristo, tujja kuba bavumu era tewali kijja kutulemesa kutuukiriza buweereza bwaffe. Wadde nga tuyinza okuba nga tuziyizibwa ab’eŋŋanda zaffe, nga tuli balwadde, nga tukaddiye, oba ng’abantu be tubuulira tebeefiirayo, tekijja kutulemesa kwoleka okwagala kwe tulina eri Yakuwa nga tufuba okutuukiriza obulungi obuweereza bwaffe.
4. Okwagala kwe tulina eri Yakuwa kutuwa nkizo ki?
4 Okwagala kulina amaanyi, era tulina enkizo ey’okuba n’obusobozi obw’okwoleka okwagala kwaffe eri Katonda nga tuli mu buweereza. (1 Kol. 13:13) Ng’ekiseera eky’okutukuliriza ddala erinnya lya Yakuwa kigenda kisembera, ka ‘okwagala kwaffe kweyongereyongere.’—Baf. 1:9; Mat. 22:36-38.