Ekitundu Ekipya Ekijja Okufulumiranga mu Omunaala gw’Omukuumi
Buli Lwamukaaga olusooka mu mwezi, tubaddenga tukozesa ekitundu ekifulumira mu Omunaala gw’Omukuumi ekirina omutwe ogugamba nti, “Yiga Ebiri mu Kigambo kya Katonda” okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli. Naye okutandika n’omwezi gwa Jjanwali, tujja kukozesanga ekitundu ekirina omutwe ogugamba nti “Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino,” ekijja okubeeranga ku lupapula olusembayo olw’Omunaala gw’Omukuumi ogwa bonna. Tujja kukozesanga ekitundu ekyo mu buweereza nga bwe tubadde tukozesa ekitundu, “Yiga Ebiri mu Kigambo kya Katonda.” (km 12/10 lup. 2) Nga bwe kibadde, Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka kajja kufulumirangamu ennyanjula ze tuyinza okukozesa ku Lwomukaaga olusooka mu mwezi.