Ku Lwomukaaga Olusooka, Essira Mulisse ku Kutandika Okuyigiriza Abantu Bayibuli
Okuva mu mwezi gwa Maayi 2011, ababuulizi bazze bakubirizibwa okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli ku Lwomukaaga olusooka buli mwezi. Okutuyamba okutuukiriza ekyo, Omunaala gw’Omukuumi ogwa bonna gubaamu ekitundu ekirina omutwe, “Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino.” N’olwekyo, ow’oluganda bw’aba akubiriza olukuŋŋaana lw’okugenda okubuulira ku Lwomukaaga olusooka mu mwezi asaanidde okulaga engeri ekitundu ekyo gye kiyinza okukozesebwamu. Ate era asaanidde okulaga ekyokulabirako ng’akozesa ennyanjula ekwata ku kitundu ekyo.
Abakadde basobola okusalawo buli kibinja ky’obuweereza kibe n’olukuŋŋaana lwakyo olw’okugenda okubuulira ku Lwomukaaga olusooka, oba ebibinja byonna bikuŋŋaane wamu gamba nga ku Kizimbe ky’Obwakabaka. Naye bwe kiba nti Ekizimbe ky’Obwakabaka kikozesebwa ebibiina bingi, tewali kibiina kisaanidde kuzza nteekateeka ey’okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli ku lunaku lulala olw’okwagala ebibinja byonna okuba n’olukuŋŋaana lumu olw’okugenda okubuulira.