Kozesa Omukutu Gwaffe Ogwa Intaneeti Okuyigiriza Abaana Bo
1. Lwaki ekitundu ekikwata ku baana kyateekebwa ku mukutu gwaffe ogwa Intaneeti?
1 Omukutu gwaffe ogwa Intaneeti, jw.org, gwategekebwa okuyamba n’abaana abato. Ekitundu ekirina omutwe ogugamba nti “Children” (genda ku Bible Teachings > Children) kiyamba abaana okuba n’enkolagana ennungi ne bazadde baabwe era ne Yakuwa. (Ma. 6:6, 7) Oyinza otya okukozesa ekitundu kino okuyigiriza abaana bo?
2. Oyinza otya okulonda ekitundu eky’okuyiga ekituukagana n’emyaka gy’abaana bo?
2 Tuukagana n’Embeera Zaabwe: Buli mwana alina ebyetaago bya njawulo. (1 Kol. 13:11) Kati olwo, oyinza otya okulonda ekitundu eky’okuyiga ekituukagana n’emyaka gy’abaana bo? Weebuuze: ‘Kiki ekinaasikiriza abaana bange? Basobola kuyiga byenkana wa? Bassaayo omwoyo kumala bbanga ki?’ Abaana ab’emyaka essatu n’okudda wansi, oyinza okusoma nabo ebyo ebiri mu kitundu ekirina omutwe, “Bye Njiga mu Bayibuli” ekiri ku mukutu gwaffe ogwa Intaneeti. Amaka agamu ganyumirwa okusoma ebyo ebiri mu kitundu ekirina mutwe, “Teach Your Children.” Ate era lowooza ne ku bitundu bino wammanga.
3. Abazadde bayinza batya okukozesa ebyo ebiri wansi w’omutwe “Family Worship Projects”?
3 Ekitundu Ekirina Omutwe, Family Worship Projects: Emitwe gy’amaka basobola okukozesa ebiri mu kitundu ekyo okuyigiriza abaana baabwe. Okumanya engeri y’okukozesaamu buli kitundu, nyiga ku kigambo “download” osome obulagirizi obuweebwa abazadde. (“Parents’ Guide”) Kozesa ebifaananyi, gamba ng’ebyo eby’okusiiga langi, okuyigiriza abaana abato. Yamba abaana abakulu okukola ebyo ebiri mu kitundu ekirina omutwe, “Study Activities.” Ebyo byonna ebiri wansi w’omutwe “Family Worship Projects,” biba bikwata ku nsonga y’emu eyogerwako mu Bayibuli. N’olwekyo buli mwana asobola okuweebwa eky’okukola mu kusinza kw’amaka okusinziira ku myaka gye.
4. Biki ebiri mu kitundu ekirina omutwe, “Become Jehovah’s Friend”?
4 Ekitundu Ekirina Omutwe, Become Jehovah’s Friend: Vidiyo, ennyimba, n’eby’okukolako ebiri mu kitundu kino ekiri ku mukutu gwaffe ogwa Intaneeti biyamba abazadde okuyigiriza abaana baabwe abato Ekigambo kya Katonda. (Ma. 31:12) Buli vidiyo erina ekintu ekikulu ennyo ky’eyigiriza omwana. Eby’okukolako gamba ng’okuzuula ebintu we biri biyamba omwana okwongera okutegeera ebiba biyigirizibwa. Okuva bwe kiri nti abaana baagala nnyo okuyimba, era ng’ennyimba zibayamba okujjukira bye baba bayize, ennyimba z’Obwakabaka awamu n’ennyimba endala ez’abaana abato ziteekebwa ku mukutu gwaffe ogwa Intaneeti.
5. Lwaki abazadde basaanidde okusaba Yakuwa abayambe nga bayigiriza abaana baabwe amazima?
5 Abazadde, Yakuwa ayagala okubayamba musobole okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwammwe. N’olwekyo mumusabe abayambe nga muyigiriza abaana bammwe amazima. (Balam. 13:8) Yakuwa asobola okubayamba okutendeka abaana bammwe ne bafuuka ‘abagezi okusobola okufuna obulokozi okuyitira mu kukkiriza okuli mu Kristo Yesu.’—2 Tim. 3:15; Nge. 4:1-4.