Ekitundu Ekisobola Okutuyamba mu Buweereza
1. Lwaki ekitundu ekirina omutwe “Okukubaganya Ebirowoozo,” kiteekebwa mu magazini y’Omunaala gw’Omukuumi?
1 Magazini y’Omunaala gw’Omukuumi eya bonna etera okufulumiramu ekitundu ekirina omutwe ogugamba nti, “Okukubaganya Ebirowoozo.” Ekitundu ekyo kiteekebwamu lwa nsonga bbiri—okuyigiriza abantu Bayibuli mu ngeri esikiriza n’okutulaga engeri gye tuyinza okukubaganyaamu n’omuntu ebirowoozo ku nsonga ezitali zimu. (1 Peet. 3:15) Tuyinza kukikozesa tutya?
2. Ekitundu ekyo tuyinza kukikozesa tutya mu buweereza?
2 Kikozese mu Buweereza: Oyinza okutereka ezimu ku kopi z’Omunaala gw’Omukuumi ezirimu ekitundu ekyo. Singa oyo gw’oba obuulira oba omuyizi wo akubuuza ekibuuzo ekyaddibwamu mu emu ku magazini ezo, gimuwe mukubaganye naye ebirowoozo. Bw’oba tolina magazini erimu ekitundu ekiddamu ekibuuzo kye, oyinza okugifuna ku mukutu gwaffe jw.org.
3. Tuyinza tutya okukubaganya ebirowoozo n’omuntu ku kimu ku bitundu ebyo?
3 Oyinza otya okukubaganya ebirowoozo n’omuntu ng’okozesa ekimu ku bitundu ebyo? Ababuulizi abamu basaba omuntu n’asoma ebigambo bya nnyinimu mu ddoboozi eriwulikika, ate bo ne basoma ebigambo by’omubuulizi. Enkola eyo nnungi nnyo kubanga esobozesa omuntu okutegeera enzikiriza zaffe mu ngeri etamuleetera kuwulira nti zimukakaatikibwako.—Ma. 32:2.
4. Tuyinza tutya okukozesa ekitundu kino okwetendeka?
4 Weetendeke era Otendeke n’Abalala: Bw’oba osoma ebitundu ebyo, weetegereze ebyawandiikibwa, ebyokulabirako, n’engeri ensonga gye zisengekeddwamu. Ate era weetegereze engeri gye boogeramu. Gezaako okukozesa enkola y’emu ng’obuulira. (Nge. 1:5; 9:9) Mwannyinaffe omu yagamba nti, “Bw’osoma ebitundu bino oba ng’ayigira ku payoniya alina obumanyirivu, akozesa ebigambo ebituukirawo!”
5. Ekitundu ekyo tuyinza kukikozesa tutya okuyamba abayizi baffe okweteekerateekera obuweereza?
5 Ate era oyinza okukozesa ekitundu ekyo okuyamba omuyizi wo okweteekerateekera obuweereza. Mukisomere wamu naye ng’omuyizi asoma ebigambo by’omubuulizi. Mu ngeri eyo, omuyizi aba ayiga engeri y’okubuuliramu abalala ebikwata ku nzikiriza ye. (Kol. 4:6) Mu butuufu, ebitundu ebyo bye bimu ku bintu Yakuwa by’akozesa okutuyamba ‘okutuukiriza mu bujjuvu’ obuweereza bwaffe.—2 Tim. 4:5.