Okuyamba Abo Abayinza Obutakkiriza Katabo Baibuli ky’Eyigiriza
1. Abantu bonna bakkiririzaawo akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza? Nnyonnyola.
1 Omuntu okufuuka omuweereza wa Yakuwa, alina okuyiga Bayibuli by’eyigiriza. Kyokka, abamu bali mu ddiini ezitali za Kikristaayo era Bayibuli tebagitwala ng’Ekigambo kya Katonda. Abalala tebakkiririza mu Katonda era ne Bayibuli tebagikkiririzaamu. Biki ababuulizi abamu bye bakozesezza okuyamba abantu ng’abo, mu kusooka abaali bataagala kusoma katabo Baibuli Ky’Eyigiriza? Amagezi gano wammanga geesigamiziddwa ku ebyo ababuulizi okuva mu nsi nga 20 bye baayogera.
2. Singa omuntu atugamba nti takkiririza mu Katonda, kiki kye tusaanidde okukola, era lwaki?
2 Abo Abatakkiririza mu Katonda: Singa omuntu akugamba nti takkiririza mu Katonda, kiba kirungi okumubuuza ensonga lwaki tamukkiririzaamu. Kyandiba nti akkiriza nti ebintu tebyatondebwa butondebwa? Takyakkiririza mu Katonda olw’okubonaabona okuliwo mu nsi oba olw’obunnanfuusi obuli mu madiini? Kyandiba nti ekitundu mw’ava tebakkiririza mu Katonda? Ayinza okuba ng’akkiriza nti Katonda gyali naye ng’alowooza nti si kikulu kumukkiririzaamu. Ababuulizi abamu babuuza omuntu ng’oyo nti, “Lwaki olowooza bw’otyo?” ekimuleetera okubannyonnyola ekyamuviirako okuba n’endowooza eyo. Bw’oba omubuuzizza, muwulirize bulungi era tomusala kirimi. Bwe tutegeera ensonga eviirako omuntu obutakkiririza mu Katonda, tujja kumanya engeri y’okumuddamu n’ekitabo kye tuyinza okumuwa.—Nge. 18:13.
3. Tuyinza tutya okulaga nti tussa ekitiibwa mu nzikiriza z’abalala?
3 Bw’oba omuddamu, weewale okumuwakanya. Ettabi ly’Abajulirwa ba Yakuwa ery’omu Amerika lyawa amagezi gano: “Kikulu nnyo okussa ekitiibwa mu ddembe ly’abantu ery’okwesalirawo kye balina okukkiririzaamu. Mu kifo ky’okubawakanya, kiba kirungi okubabuuza ebibuuzo ebinaabayamba okufumiitiriza n’okulaba ekituufu.” Omulabirizi omu akyalira ebibiina asooka n’awuliriza ng’omuntu awa endowooza ye, oluvannyuma n’amubuuza nti: “Wali olowoozezza ku kino?”
4. Tuyinza tutya okuyamba ab’enzikiriza ya Bbuda?
4 Ab’enzikiriza ya Bbuda bangi tebakkiriza nti Katonda gyali. Ababuulizi abamu mu Bungereza bwe basanga abantu ng’abo batera okukozesa brocuwa erina omutwe ogugamba nti Lasting Peace and Happiness—How to Find Them. Oluvannyuma lw’okulaga omuntu ennyanjula y’akatabo ako, bakubaganya naye ebirowoozo ku kitundu ekirina omutwe, “Ddala Eriyo Katonda Eyatonda Ebintu Byonna?” n’omulala ogugamba nti “Ekitabo Ekiyamba Abantu Bonna.” Oluvannyuma, bayinza okumutwalira akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza ne bamugamba nti, “Wadde nga tokkiririza mu Katonda, bw’onooyiga Bayibuli ojja kuganyulwa nnyo kubanga erimu amagezi agasobola okukuyamba mu bulamu.” Payoniya omu ow’omu Amerika abuulira mu kitundu ekirimu Abakyayina yagamba nti: “Abantu bangi mu kitundu kyaffe baagala nnyo okusoma ebitabo, era bwe tubalekera ebitabo, babisoma ne babimalako nga tetunnaba na kubaddira. Naye bayinza obutamanya nti kyetaagisa okubayigiriza Bayibuli. N’olwekyo, mbawa brocuwa Amawulire Amalungi ku mulundi gwe mba nsoose okubakyalira kubanga yawandiikibwa mu ngeri esobozesa abantu okukubaganya ebirowoozo.” Omulabirizi akyalira ebibiina ebiri mu kitundu mwe boogera Olukyayina mu Amerika agamba nti kisoboka okukozesa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza ku mulundi gw’oba osoose okukyalira omuntu. Wadde kiri kityo, kiba kirungi okutandikira ku ssuula 2, eyogera ku Bayibuli, mu kifo ky’okutandikira ku ssuula 1, eyogera ku Katonda.
5. Lwaki kikulu okuba abagumiikiriza?
5 Kitwala ekiseera omuntu okukkiririza mu Katonda, n’olwekyo kirungi okuba abagumiikiriza. Omuntu ayinza obutakkiririzaawo nti Omutonzi gyali ku mirundi gye tuba tusoose okumukyalira. Naye oluvannyuma lw’ekiseera, ayinza okutandika okukkiriza nti Katonda gyali.
6. Lwaki abantu abamu tebakkiririza mu Bayibuli?
6 Abo Abatakkiririza mu Bayibuli oba Ababuusabuusa Ebigirimu: Oluusi omuntu ayinza okuba ng’akkiriza nti Katonda gyali naye nga takkiririza mu Bayibuli, olw’okuba alowooza nti Bayibuli si Kigambo kya Katonda. Oboolyawo ensi mw’ava temuli ddiini za Kikristaayo era nga Bayibuli agitwala ng’ekitabo ky’abo abeeyita Abakristaayo. Oba ayinza okuba ng’ava mu nsi omuli amadiini ageeyita Amakristaayo naye ng’alowooza nti Bayibuli tejja kumuganyula. Tuyinza tutya okuyamba abantu ng’abo okwagala okuyiga Bayibuli n’oluvannyuma ne tugibayigiriza nga tukozesa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza?
7. Abo abatakkiririza mu Bayibuli oba ababuusabuusa ebigirimu tuyinza kubayamba tutya?
7 Ofiisi y’ettabi ly’Abajulirwa ba Yakuwa mu Buyonaani yawandiika nti: “Engeri esingayo obulungi ey’okuyambamu abantu ababuusabuusa obanga Bayibuli ntuufu, kwe kubalaga ebigirimu. Ababuulizi bangi bakizudde nti obubaka obuli mu Bayibuli bwa maanyi nnyo okusinga ekigambo kyonna kye bayinza okwogera. (Beb. 4:12) Okulaba erinnya lya Katonda mu Bayibuli kireetedde bangi okwagala okugisoma.” Ofiisi y’ettabi ly’Abajulirwa ba Yakuwa mu Buyindi yawandiika nti: “Abahindu bangi bakwatibwako nnyo bwe bategeera ekituufu ekituuka ku muntu ng’afudde. Era bakwatibwako nnyo bwe babuulirwa essuubi eriri mu Bayibuli ery’ensi empya omutaliba busosoze.” Ababuulizi bwe boogera ku bizibu abantu b’omu kitundu kyabwe bye balina, kibawa akakisa okubalaga ekyo Obwakabaka bwa Katonda kye bujja okukola okumalawo ebizibu ebyo.
8. Kiki kye tuyinza okwogera nga tusanze abalina endowooza enkyamu ku Bayibuli olw’amadiini ageeyita Amakristaayo?
8 Singa omuntu aba n’endowooza enkyamu ku Bayibuli olw’amadiini ageeyita Amakristaayo, muyambe okukiraba nti amadiini ago bye gayigiriza ne bye gakola bikontana ne Bayibuli. Ofiisi y’ettabi ly’Abajulirwa ba Yakuwa mu Buyindi yawandiika nti: “Oluusi kyetaagisa okuyamba abantu okukitegeera nti amadiini ageeyita Amakristaayo si ge gasaanidde okusomesa abantu Bayibuli.” Era yagamba nti ebyo ebiri mu ssomo 4 mu brocuwa What Is the Purpose of Life? How Can You Find It?, ebinnyonnyola engeri amakanisa gye gakozesaamu obubi Ekigambo kya Katonda n’engeri gye gagezezzaako okukisaanyaawo, bitera okusikiriza Abahindu. Payoniya omu ow’omu Brazil agamba omuntu nti: “Nkusaba weekenneenye ebyo ebiri mu Bayibuli. Waliwo abantu bangi abayiga Bayibuli nga tebasoose kwegatta ku ddiini yonna. Naawe bw’onookola bw’otyo ojja kuyiga ebintu bingi nnyo.”
9. Lwaki tetusaanidde kulekulira bwe kiba nti omuntu tayagala kuyiga Bayibuli?
9 Yakuwa akebera omutima gwa buli muntu. (1 Sam. 16:7; Nge. 21:2) Aleeta abo ab’emitima emirungi mu kusinza okw’amazima. (Yok. 6:44) Bangi ku bo tebayigangako bikwata ku Katonda oba tebasomangako Bayibuli. Obuweereza bwaffe bubawa akakisa ‘okulokolebwa n’okutegeerera ddala amazima.’ (1 Tim. 2:4) N’olwekyo, bwe kiba nti abamu tebaagala kuyiga Bayibuli nga bakozesa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza, toggwamu maanyi! Kozesa ebitabo ebirala obayambe okwagala Bayibuli. Oluvannyuma, oyinza okubatwala mu katabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?, akatabo kaffe akakulu ke tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli.
[Akasanduuko akali ku lupapula 4]
Bw’agamba nti takkiririza mu Katonda, gezaako bino:
• Mubuuze nti, “Lwaki ogamba bw’otyo?” osobole okumanya ensonga kw’asinziira obutakkiririza mu Katonda.
• Bw’aba nga wa nzikiriza ya Bbuda, kozesa brocuwa Lasting Peace and Happiness—How to Find Them, olupapula 9-12.
• Bw’aba nga takkiriza nti ebintu byatondebwa butondebwa, kozesa bino:
Ebitundu ebifulumira mu Awake! ebirina omutwe ogugamba nti “Kyatondebwa?”
Vidiyo erina omutwe ogugamba nti The Wonders of Creation Reveal God’s Glory
Brocuwa A Satisfying Life—How to Attain It, essomo 4; Was Life Created?; ne The Origin of Life—Five Questions Worth Asking
• Bw’aba nga takkiririza mu Katonda olw’okubonaabona n’obutali bwenkanya ebiriwo mu nsi, kozesa bino:
Akatabo Is There a Creator Who Cares About You?, essuula 10
Brocuwa Ddala Katonda Afaayo Gye Tuli?, essomo 6, ne What Is the Purpose of Life?, essomo 6
• Bw’atandika okukkiriza nti Katonda gyali, mutwale mu katabo Baibuli Ky’Eyigiriza. Kiba kirungi okutandikira ku ssuula 2 oba essuula endala etuukirawo.
[Akasanduuko akali ku lupapula 5]
Bw’agamba nti takkiririza mu Bayibuli, gezaako bino:
• Musome essuula 17 ne 18 mu katabo Life—How Did It Get Here? By Evolution or by Creation?
• Bw’aba Omuhindu, kozesa brocuwa Why Should We Worship God in Love and Truth?
• Bw’aba Omuyudaaya, kozesa brocuwa Will There Ever Be a World Without War?, olupapula 3-11.
• Mukubaganye ebirowoozo ku miganyulo egiri mu kukolera ku ebyo Bayibuli by’eyigiriza. Bino wammanga, bye bimu ku bintu by’osobola okukozesa okulaga omuntu emiganyulo egiri mu kukolera ku ebyo Bayibuli by’eyigiriza:
Ebitundu ebirina omutwe, “Ebisobola Okuyamba Amaka” ebifulumira mu Awake!
Vidiyo erina omutwe, The Bible—Its Power in Your Life
Brocuwa Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!, essomo 9 ne 11; brocuwa A Book for All People, olupapula 22-26; ne A Satisfying Life—How to Attain It, essomo 2
Bw’osanga ab’enzikiriza ya Bbuda, kozesa brocuwa erina omutwe, The Pathway to Peace and Happiness, olupapula 3-7.
Bw’osanga Abasiraamu, kozesa brocuwa erina omutwe, Real Faith—Your Key to a Happy Life, essomo 3.
Bw’oba obuulira mu kitundu omuli abantu abataagalira ddala Bayibuli, kiba kirungi obutababuulira w’oggya ebyo bye mukubaganyaako ebirowoozo okutuusa ng’obakyalidde enfunda eziwera.
• Nnyonnyola abantu engeri obunnabbi bwa Bayibuli gye butuukiriziddwamu. Oyinza okukozesa bino:
Vidiyo erina omutwe The Bible—Accurate History, Reliable Prophecy
Brocuwa A Book for All People, olupapula 27-29
• Omuntu bw’akubuuza ekyo Bayibuli ky’eyigiriza ku nsonga emu, mutwalirewo mu katabo Baibuli Ky’Eyigiriza.
[Akasanduuko akali ku lupapula 6]
Omuntu bw’akugamba nti: “Sikkiririza mu Katonda,” oyinza okumugamba nti:
• “Wandyagadde nkubuulireko ekyandeetera okukkiririza mu Mutonzi?” Oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri mu katabo Reasoning, olupapula 84-86, oba kola enteekateeka okumutwalira akatabo akalala akakwata ku nsonga eyo.
• “Naye singa Katonda aba nga gyali, wandyagadde abe na ngeri ki?” Abantu abasinga obungi baddamu nti bandyagadde Katonda alina okwagala, omwenkanya, ow’ekisa, era atasosola. Mulage mu Bayibuli nti Katonda alina engeri ezo. (Oyinza n’okukozesa essuula 1 ey’akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza, ng’otandikira ku katundu 6.)
Omuntu bw’akugamba nti “Sikkiririza mu Bayibuli,” oyinza okumugamba nti:
• “Abantu bangi bwe batyo bwe bagamba. Abamu balowooza nti Bayibuli tekwatagana na sayansi oba nti si ya muganyulo gye tuli. Ggwe wali osomyeko Bayibuli okumanya ky’egamba? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma mulage ennyanjula eri ku lupapula 3 mu brocuwa A Book for All People, era ogimuwe.] Abantu bangi tebakkiririza mu Bayibuli olw’okuba amadiini ganyoolanyoola enjigiriza zaayo. Nandyagadde nkomewo tukubaganye ebirowoozo ku kyokulabirako ekiri ku lupapula 4 ne 5.”
• “Si ggwe wekka alina endowooza eyo. Wandyagadde nkulage ekimu ku bintu ebyewuunyisa ebiri mu Bayibuli? [Soma Yobu 26:7 oba Isaaya 40:22, awalaga nti Bayibuli ekwatagana ne sayansi.] Bayibuli era erimu amagezi amalungi agasobola okuyamba amaka. Nandyagadde nkomewo nkulage agamu ku magezi ago.”
• “Weebale nnyo okumpa endowooza yo. Singa Katonda aba wa kuwandiikira bantu kitabo, biki bye wandisuubidde okuba mu kitabo ekyo?” Oluvannyuma baako ky’omulaga mu Bayibuli ekituukagana ne ky’azzeemu.