LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 6/14 lup. 4
  • Kaweefube ow’Enjawulo ow’Okuyita Abantu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kaweefube ow’Enjawulo ow’Okuyita Abantu
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
  • Similar Material
  • Bayite Babeewo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
  • Kaweefube ow’Okuyita Abantu ku Kijjukizo Atandika nga Maaki 1
    Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
  • Kaweefube ow’Okuyita Abantu ku Lukuŋŋaana Olunene
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
  • Kaweefube ow’Okuyita Abantu ku Kijjukizo Atandika nga Maaki 22
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
km 6/14 lup. 4

Kaweefube ow’Enjawulo ow’Okuyita Abantu

1. Tunaatandika ddi kaweefube ow’okuyita abantu ku lukuŋŋaana olunene olw’ennaku essatu?

1 Bw’okozesa ebiseera bingi ne ssente nnyingi okuteekerateekera ab’eŋŋanda zo oba mikwano gyo ekijjulo, ofuba okubayita babeerewo ku kijjulo ekyo. Mu ngeri y’emu, bingi ebikoleddwa okuteekateeka enkuŋŋaana ennene ez’ennaku essatu n’enkuŋŋaana ennene ez’ensi yonna ez’omwaka 2014. N’olwekyo ng’olukuŋŋaana lwaffe olunene olw’ennaku essatu terunnatuuka, tujja kumala wiiki ssatu nga tuyita abantu ku lukuŋŋaana olwo. Kiki ekinaatuyamba okwenyigira mu kaweefube oyo mu bujjuvu?

2. Kiki ekinaatukubiriza okwenyigira mu kaweefube oyo mu bujjuvu?

2 Bwe tunaafumiitiriza ku ngeri gye tunaaganyulwa mu kijjulo eky’eby’omwoyo Yakuwa ky’atuteekeddeteekedde ku lukuŋŋaana olunene, tujja kwenyigira mu kaweefube oyo mu bujjuvu. (Is. 65:13, 14) Era tusaanidde okukijjukira nti kaweefube gwe tukola buli mwaka avaamu ebirungi bingi. Abantu abamu be tunaayita bajja kujja ku lukuŋŋaana. Wadde ng’abamu bayinza obutajja, bwe tuneenyigira mu kaweefube ono mu bujjuvu, tujja kuweesa Yakuwa ekitiibwa era kijja kulaga nti mugabi.​—Zab. 145:3, 7; Kub. 22:17.

3. Tunaagaba tutya obupapula obuyita abantu ku lukuŋŋaana olunene?

3 Abakadde mu buli kibiina, be bajja okusalawo engeri ab’oluganda gye banaagabamu obupapula obuyita abantu. Basaanidde okusalawo obanga ababuulizi banaabuleka awaka we banaaba batasanze bantu oba banaabugaba nga babuulira mu bifo ebya lukale. Ku wiikendi ababuulizi basobola okugaba obupapula wamu ne magazini bwe kiba nga kituukirawo. Bwe kiba nti mu nnaku za kaweefube mulimu Olwomukaaga olusooka mu mwezi, essira lirina kuteekebwa ku kugaba obupapula obuyita abantu ku lukuŋŋaana so si ku kufuna bayizi ba Bayibuli. Kaweefube bw’anaggwa, tujja kuba basanyufu nnyo olw’okufuba okuyita abantu bangi okutwegattako ku kijjulo eky’eby’omwoyo Yakuwa ky’atutegekedde.

Ennyanjula gy’Oyinza Okukozesa

Ng’omaze okubuuza omuntu, oyinza okumugamba nti: “Tuli mu kaweefube akolebwa mu nsi yonna ow’okuyita abantu ku lukuŋŋaana olunene. Ennaku z’omwezi, ekiseera, n’ekifo awanaabeera olukuŋŋaana luno biri ku kapapula kano.”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share