Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Omunaala gw’Omukuumi Jjanwali 1
“Obulyi bw’enguzi bucaase nnyo mu nsi yonna. Olowooza lwaki kiri bwe kityo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze Bayibuli ky’egamba. [Soma Omubuulizi 7:20.] Akatabo kano kalaga ekijja okumalawo obulyi bw’enguzi. Nkusaba ofuneyo akaseera okasome.”
Awake! Jjanwali
“Abantu abamu bagamba nti ebintu tebyatondebwa wabula byajja bifuukafuuka, naye abalala bagamba nti buli kimu kyatondebwa. Ggwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Okunoonyereza okukoleddwa okumala emyaka mingi kulaga nti ebintu ebiramu tebiyinza kujjawo mu butanwa. Ekyo kikwatagana bulungi na kino kye tusoma wano mu Bayibuli. [Soma Zabbuli 36:9.] Akatabo kano kannyonnyola ekiviiriddeko abantu bangi okukkiriza nti ebintu byatondebwa butondebwa.”