LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 4/15 lup. 1
  • Kozesa Bulungi Ebiseera Byo ng’Oli mu Buweereza

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kozesa Bulungi Ebiseera Byo ng’Oli mu Buweereza
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
  • Similar Material
  • Otuukiriza Obuweereza Bwo mu Bujjuvu?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Enkola Empya ez’Okubuulira mu Lujjudde
    Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
  • Okubuulira Nnyumba ku Nnyumba
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Osobola Okubuulira mu Biseera eby’Akawungeezi?
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
km 4/15 lup. 1

Kozesa Bulungi Ebiseera Byo ng’Oli mu Buweereza

Mu mwaka gw’obuweereza ogwa 2014, Abajulirwa ba Yakuwa baamala essaawa 1,945,487,604 nga babuulira, era ekyo kiraga nti tumaliridde okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu! (Zab. 110:3; 1 Kol. 15:58) Okuva bwe kiri nti “ekiseera ekisigaddeyo kitono,” ebiseera byaffe eby’omuwendo tusaanidde okubikozesa okutuuka ku bantu abalala bangi.—1 Kol. 7:29.

Okusobola okukozesa obulungi ebiseera byaffe mu buweereza, tusaanidde okukyusaamu we kiba kyetaagisa. Ng’ekyokulabirako, bw’oba otera okukozesa enkola emu ey’okubuulira naye ng’omala essaawa ng’emu nga toyogedde na muntu, kiba kirungi n’okyusaamu osobole okufuna abantu ab’okubuulira. Kyo kituufu nti mu buli kitundu embeera ziba za njawulo. Wadde kiri kityo, amagezi gano wammanga gasobola okukuyamba okukozesa obulungi ebiseera byo oleme ‘kukuba bbanga.’—1 Kol. 9:26.

  • Okubuulira Nnyumba ku Nnyumba: Okumala emyaka mingi, ababuulizi batandika okubuulira nga bagenda nnyumba ku nnyumba. Naye okuva bwe kiri nti emisana abantu bangi baba bagenze kukola, kiba kirungi okubuulira nnyumba ku nnyumba olw’eggulo oba akawungeezi, ng’abantu bangi bakomyewo awaka era nga tebalina bya kukola bingi. Emisana, bwe tubuulira ku nguudo oba mu bitundu omukolerwa bizineesi, tuyinza okufuna abantu bangi ab’okubuulira.

  • Okubuulira mu Bitundu Awayita Abantu Abangi: Obugaali n’emmeeza okuli ebitabo bisaanidde okuteekebwa mu bifo awayita abantu abangi mu kitundu ekibiina kyammwe mwe kibuulira. (Laba Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjulaayi 2013 lup. 5.) Abantu abayita mu kifo we muteeka akagaali oba emmeeza okuli ebitabo bwe bakendeera, Akakiiko k’Obuweereza ak’Ekibiina kayinza okusalawo ne mutandika okukozesa enkola eno mu kifo ekirala awayita abantu abangi.

  • Okuddiŋŋana n’Okuyigiriza Abayizi ba Bayibuli: Kiba kirungi okuddira omuntu oba okuyigiriza omuyizi mu kiseera enkola endala ez’okubuulira we zitaviiramu bibala bingi. Ng’ekyokulabirako, bwe kiba nti ku Lwomukaaga ku makya osanga abantu bangi awaka ng’obuulira nnyumba ku nnyumba, oyinza okusalawo okuyigiriza omuyizi wo olw’eggulo oba akawungeezi.

Wadde nga tubala essaawa ze tumala nga tubuulira, essanyu lyaffe lyeyongera bwe tufuna ebibala mu buweereza. Bw’olaba ng’enkola ey’okubuulira gy’okozesa mu kiseera ekimu tevaamu bibala, gezaako endala. Saba Yakuwa, “Nnannyini makungula,” akuwe obulagirizi osobole okukozesa obulungi ebiseera byo mu buweereza!—Mat. 9:38.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share