Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okutandikirawo Okuyigiriza Omuntu Bayibuli ng’Okozesa Brocuwa Amawulire Amalungi
Lwaki Kikulu: Okusobola okufuula abantu abayigirizwa, tulina okubayigiriza Ekigambo kya Katonda. (Mat. 28:19, 20) Ffenna tusobola okuyigiriza obulungi abantu amazima nga tukozesa ebitabo ebituweereddwa. Brocuwa Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda! yategekebwa okutuyamba okukola ekyo. Mu butuufu, tusobola okugikozesa okutandika okuyigiririza omuntu Bayibuli ku mulundi gwe tuba tusoose okumukyalira.
Mu Mwezi Guno Gezaako Kino:
Saba Yakuwa akwagazise okufuna omuyizi wa Bayibuli. Ate era musabe akuyambe okufuna omuyizi wa Bayibuli n’okukuguka mu kuyigiriza abantu amazima.—Baf. 2:13.
Mu kusinza kw’amaka oba nga weesomesa, weegezeemu engeri gy’oyinza okukozesa ennyanjula eweereddwa. Ekyo kijja kukusobozesa okwogera n’obuvumu era n’okufuna omuyizi wa Bayibuli.