EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OKUVA 4-5
“Nja Kuba Naawe ng’Oyogera”
Yakuwa yayamba Musa okuggwaamu okutya. Biki bye tuyigira ku ngeri Yakuwa gye yakolaganamu ne Musa?
Tusaanidde okwewala okulowooza ennyo ku ebyo bye tutasobola kukola
Tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kutuwa obuyambi bwonna bwe twetaaga okusobola okutuukiriza obuweereza bwaffe
Okwesiga Katonda kijja kutuyamba obutatya bantu
Yakuwa annyambye atya okweyongera okubuulira ne mu mbeera enzibu?