OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Weegendereze Oleme Kusaasaanya Bintu eby’Obulimba
Leero, abantu bangi basobola okufuna mangu obubaka okuyitira mu mpapula z’amawulire, ku leediyo, ku ttivi, ne ku Intaneeti. Abo abasinza “Katonda ow’amazima” tebaagala kusaasaanya bubaka bwa bulimba, ne mu butali bugenderevu. (Zb 31:5, obugambo obuli wansi; Kuv 23:1) Okusaasaanya ebintu eby’obulimba kisobola okulumya abalala. Bw’oba oyagala okumanya oba nga bye bakugambye bituufu, weebuuze nti:
‘Ensibuko yaabyo yeesigika?’ Oyo akubuulira obubaka ayinza okuba nga tamanyi byonna bizingirwamu. Obubaka obuva ku muntu omu ne budda ku mulala busobola okukyuka. N’olwekyo, beera mwegendereza bw’oba tomanyi nsibuko yaabwo. Olw’okuba abo abalina obuvunaanyizibwa mu kibiina ab’oluganda babeesiga nti babawa obubaka obwesigika, basaanidde okubeera abeegendereza baleme kubuulira baluganda bintu bitaliiko bukakafu
‘Byonoona erinnya ly’omuntu omulala?’ Obubaka bwe buba nga bwonoona erinnya ly’omuntu oba ery’ekibiina, tetusaanidde kububuulira balala.—Nge 18:8; Baf 4:8
‘Ddala bituufu?’ Beera mwegendereza bw’oba owulidde ebintu ebicamuukiriza
MULABE VIDIYO YA BUKATUUNI ERINA OMUTWE, NNYINZA NTYA OKUKOMYA OLUGAMBO? OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
Okusinziira ku Engero 12:18, ebigambo biyinza bitya okuba eby’obulabe?
Ebiri mu Abafiripi 2:4 biyinza bitya okutuyamba okuba n’endowooza ennungi nga twogera ku balala?
Kiki kye tusaanidde okukola singa wabaawo atandika okwogera obubi ku balala oba okubawaayiriza?
Bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza nga tetunnatandika kwogera ku balala?