Footnote
a Ekyawandiikibwa kyaffe eky’omwaka 2022 kiggiddwa mu Zabbuli 34:10, awagamba nti: “Abanoonya Yakuwa tebaajulenga kirungi kyonna.” Bangi ku baweereza ba Yakuwa abeesigwa balina ebintu bitono ddala. Kati olwo lwaki tugamba nti ‘tebajula kirungi kyonna’? Era okutegeera amakulu g’olunyiriri luno, kinaatuyamba kitya okweteekerateekera ebiseera ebizibu ebijja mu maaso?