Footnote
a Bayibuli ekubiriza Abakristaayo okugondera ab’obuyinza, kwe kugamba gavumenti z’ensi. Kyokka, gavumenti ezimu ziwakanya Yakuwa era ziyigganya abaweereza be. Tuyinza tutya okugondera ab’obuyinza, kyokka ne tusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa?