Lwakusatu, Okitobba 22
Okukkiriza bwe kutaba na bikolwa kuba kufu.—Yak. 2:17.
Yakobo yagamba nti omuntu ayinza okugamba nti alina okukkiriza naye nga by’akola byoleka nti talina kukkiriza. (Yak. 2:1-5, 9) Yakobo era yayogera ku muntu alaba ‘muganda waffe oba mwannyinaffe atalina kya kwambala oba emmere emumala’ naye n’atabaako ky’akolawo kumuyamba. Omuntu ng’oyo ne bw’agamba nti alina okukkiriza, okukkiriza okwo tekuliiko bikolwa. N’olwekyo, engeri gye yeeyisaamu eraga nti talina kukkiriza. (Yak. 2:14-16) Yakobo yayogera ku kyokulabirako kya Lakabu eyayoleka okukkiriza okuyitira mu ebyo bye yakola. (Yak. 2:25, 26) Lakabu yawulira ebikwata ku Yakuwa era n’akiraba nti Yakuwa yali ayamba Abayisirayiri. (Yos. 2:9-11) Ebikolwa bye byalaga nti yalina okukkiriza kubanga yakweka abakessi ba Isirayiri ababiri obulamu bwabwe bwe bwali mu kabi. N’olw’ensonga eyo, omukyala oyo eyali tatuukiridde era ataali Muyisirayiri yayitibwa mutuukirivu nga Ibulayimu bwe yali. Ekyokulabirako kye yassaawo kiraga obukulu bw’okwoleka okukkiriza mu bikolwa. w23.12 5-6 ¶12-13
Lwakuna, Okitobba 23
Musimbe emirandira era munywerere ku musingi.—Bef. 3:17.
Tetwagala kukoma ku kumanya njigiriza za Bayibuli ezisookerwako zokka. Twagala omwoyo gwa Katonda gutuyambe okutegeera ebintu “bya Katonda eby’ebuziba.” (1 Kol. 2:9, 10) Osobola okunoonyereza ku ebyo by’osoma ng’olina ekigendererwa eky’okweyongera okusemberera Katonda. Ng’ekyokulabirako, osobola okunoonyereza ku ngeri gye yalagamu abaweereza be ab’omu biseera eby’edda okwagala, era n’engeri ekyo gye kiragamu nti naawe akwagala. Oyinza okusoma ku ngeri Yakuwa gye yali ayagala Abayisirayiri bamusinzeemu, n’ogigeraageranya n’engeri gy’ayagala tumusinzeemu leero. Oba oyinza okwekenneenya obunnabbi obwatuukirira ku Yesu mu bulamu bwe ne mu buweereza bwe ku nsi. Bw’osoma ku bintu ebyo ng’okozesa Watch Tower Publications Index oba Ekitabo Ekiyamba Abajulirwa ba Yakuwa Okunoonyereza, osobola okufuna essanyu lingi. Okusoma ku bintu eby’ebuziba ebiri mu Bayibuli kisobola okunyweza okukkiriza kwo n’okukuyamba ‘okuvumbula okumanya okukwata ku Katonda.’—Nge. 2:4, 5. w23.10 18-19 ¶3-5
Lwakutaano, Okitobba 24
Okusinga byonna, mwagalanenga nnyo, kubanga okwagala kubikka ku bibi bingi.—1 Peet. 4:8.
Ekigambo “nnyo” Peetero kye yakozesa, obutereevu kitegeeza “okunaanuuka.” Ekitundu ekyokubiri eky’olunyiriri olwo kiraga ekyo kye tukola bwe tuba nga tulina okwagala ng’okwo. Bwe tuba nga twagala nnyo abalala, kituyamba okubikka ku bibi byabwe. Okwagala okwo tuyinza okukugeraageranya ku lugoye lwe tukutte n’emikono gyaffe ebiri ne tulunaanuula ne luba nga lusobola okubikka, si ku kibi kimu kyokka oba bibiri, wabula ku “bibi bingi.” Ekigambo okubikka kikozesebwa mu ngeri ya kabonero okutegeeza okusonyiwa. Ng’olugoye bwe lusobola okubikka amabala agali ku kintu, okwagala kusobola okubikka ku bunafu ne ku butali butuukirivu bwa bakkiriza bannaffe. Okwagala kwe tulina eri bakkiriza bannaffe kulina okuba okw’amaanyi ennyo nga kutusobozesa okubasonyiwa ensobi zaabwe, ka kibe nti ekyo oluusi kyetaagisa okufuba ennyo. (Bak. 3:13) Bwe tusonyiwa abalala kiba kiraga nti okwagala kwe tulina kwa maanyi era kiraga nti twagala okusanyusa Yakuwa. w23.11 11-12 ¶13-15