Oluyimba 25
Ekiraga Abayigirizwa ab’Amazima
Printed Edition
1. Okubeera Abakristaayo
Tulina okugondera
Etteeka erisinga gonna;
Nga ly’eryo ery’okwagala.
Kristo yalaga okwagala;
Yawaayo obulamu bwe.
Yassaawo ekyokulabirako;
Ka tukigobererenga.
2. Okwagala okw’amazima
Kufaayo nnyo ku balala.
Tusobola okukwoleka,
Nga tuweereza n’essanyu.
Teriiyo walala w’oyinza
Kusanga kwagala ng’okwo.
Guno mukwano gwa nnamaddala;
Ka tubenga n’okwagala.
(Era laba Bar. 13:8; 1 Kol. 13:8; Yak. 2:8; 1 Yok. 4:10, 11.)