OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Osobola Okunnyonnyola Abalala Ebikwata ku Nzikiriza Yo?
Omuntu bw’akubuuza ensonga lwaki okkiriza nti ebintu byatondebwa, oyinza kumuddamu otya? Okusobola okumuddamu nga weekakasa, olina okukola ebintu biri: Ekisooka, olina okwekakasiza nti ebintu byatondebwa. (Bar 12:1, 2) Eky’okubiri, olina okulowooza ku ngeri gy’ononnyonnyolamu abalala ekyo ky’okkiriza.—Nge 15:28.
MULABE VIDIYO, OMUSAWO W’AMAGUMBA ANNYONNYOLA EBIKWATA KU NZIKIRIZA YE NE MUNNASSAAYANSI ANNYONNYOLA EBIKWATA KU NZIKIRIZA YE, ERA OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
Lwaki Irène Hof Laurenceau akkiriza nti ebintu byatondebwa butondebwa so si nti byajja bifuukafuuka?
Lwaki Yaroslav Dovhanych akkiriza nti ebintu byatondebwa butondebwa so si nti byajja bifuukafuuka?
Oyinza otya okunnyonnyola ensonga lwaki okkiriza nti ebintu byatondebwa?
Bintu ki ekibiina kya Yakuwa bye kituwadde ebisobola okukuyamba okukakasa nti ebintu byatondebwa era by’osobola okukozesa okuyamba abalala?