-
Olubereberye 23:17, 18Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
17 Bwe kityo ne kikakasibwa nti ekibanja kya Efulooni eky’e Makupeera ekiri mu maaso ga Mamule—ekibanja n’empuku, n’emiti gyonna egyakirimu 18 Ibulayimu ye yabigula mu maaso g’abaana ba Keesi, mu maaso g’abo bonna abaali bayingira mu mulyango gw’ekibuga kye.
-
-
Olubereberye 49:29, 30Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
29 Oluvannyuma yabawa ebiragiro bino nti: “Ŋŋenda kugoberera abantu bange.*+ Munziikanga wamu ne bakitange mu mpuku eri mu kibanja kya Efulooni Omukiiti;+ 30 empuku eri mu kibanja ky’e Makupeera ekiri mu maaso ga Mamule mu nsi ya Kanani, ekibanja Ibulayimu kye yagula ku Efulooni Omukiiti okuba ekifo eky’okuziikangamu.
-